BYA MOSES MUGALULA
HON. RHODA Nakibuuka Nsibirwa Kalema, muwala w’eyali Katikkiro Nsibirwa, afudde! Kitalo nnyo! Afiiridde ku myaka 96!
Maama Rhoda Kalema, abadde mumanyifu nnyo mu by’obufuzi bya Kiboga ng’ono yaliko omukiise wa Kiboga mu lukiiko lwa National Resistance Council (NRC), Palamenti eyasooka ng’olutalo lw’ensiko lwakaggwa. Yeetaba butereevu mu lutalo lwa NRA era abadde munna NRM kaswa nga Pulezidenti Museveni amwogerako nnyo.
Anajjukirwa nnyo nti yeyaleeta Hon. Ruth Nankabirwa Ssentamu mu by’obufuzi bya Kiboga.Nankabirwa yali muwala muto ebiseera ebyo nga yakamaliriza ddiguli ye esooka e Makerere. Rhoda Kalema yamulaga Bannakiboga ng’omusikaawe mu by’obufuzi olwo Bannakiboga lwe kumuyiira obululu abakiikirire mu lukiiko lwa Constituent Assembly (CA) olwabaga Ssemateeka wa 1995.
Okuva olwo, Nankabirwa abadde mubaka wa Kiboga okutuusa wano jjuuzi, munna NUP Christine Kaaya lweyamusiguukulula nga yakafugira Kiboga emyaka 25, ve ddu.
Kyokka era, Pulezidenti Museveni, yazza Nankabirwa mu kabuneeti nga kati ye minisita w’ebyamasannyalaze n’obugagga obwomuttaka.

Ekifaananyi: Pulezidenti Museveni ng’atuuka ku mukolo, Hon. Nankabirwa gweyategeka omwaka oguwedde nga yeebaza Katonda, olwokufina Obwa Canon.
KATIKKIRO MAYIGA AMWOGEDDEKO
Mu bubaka bw’atadde ku mukutu gwe gu munyumizawala, Katikkiro wa Buganda, Owek. Charles Peter Mayiga yeebazizza nnyo omugenzi olw’okukuuma abaana nga bba, Kalema atemuddwa gavumenti ya kijambiya Idi Amin Dada.
Katikkiro agambye, “Amawulire g’okufa kwa Muky. Rhoda Kalema, muwala wa Katikkiro Martin Luther Nsibirwa, gatunakuwazza nnyo! Abadde awa ekifaananyi ekituufu ku mbeera z’omukyala ow’ettutumu era munnabyabufuzi.
Tunaamujjukiranga olw’okukuza abaana n’okukuuma amaka okuva bba, William Kalema, lwe yatemulwa mu biseera bya Idi Amin. Ate abadde ttaala y’enju y’Owek. Martin Luther Nsibirwa. Nsaasira abaana be, n’ab’omusaayi gwe. Wummula mirembe Maama/Ssenga/Jjajja.” Charles Peter Mayiga, Katikkiro.
