Amawulire Archives | News Editor https://www.newseditor.co.ug/category/amawulire/ "Nothing but the Truth" Sun, 12 Jun 2022 17:31:58 +0000 en-US hourly 1 https://wordpress.org/?v=6.4.4 https://www.newseditor.co.ug/wp-content/uploads/2019/11/cropped-Untitled-2-1-32x32.jpg Amawulire Archives | News Editor https://www.newseditor.co.ug/category/amawulire/ 32 32 BIRANZE: MARTIN KIGOZI ATEEKERATEEKERA EKIBUGA MASAKA EYAKWATIDDWA ATWALIBWA MU KKOOTI Y’ABALYAKE https://www.newseditor.co.ug/2022/06/biranze-martin-kigozi-ateekerateekera-ekibuga-masaka-eyakwatiddwa-atwalibwa-mu-kkooti-yabalyake/ https://www.newseditor.co.ug/2022/06/biranze-martin-kigozi-ateekerateekera-ekibuga-masaka-eyakwatiddwa-atwalibwa-mu-kkooti-yabalyake/#respond Sun, 12 Jun 2022 13:46:08 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=7977 EKIF: Martin Kigozi eyakwatiddwa ajjukirwa lweyakola effujjo ku baweereza ba Kabaka aba Buganda Land Board Bya Meddie KityoMASAKANEWS EDITOR MEDIA EBYA Martin Kigozi ateekerateekera ekibuga Masaka eyakwatiddwa ku Lwokutaano bibi! Ono ayolekedde okusimbibwa mu kkooti y’abalyake n’abali b’enguzi, nga bakumusoosa mu kakiiko ka State House akanoonyereza ku bulyake n’obuli bw’enguzi, bamukunye ku mivuyo ne ddiiru z’azze […]

The post BIRANZE: MARTIN KIGOZI ATEEKERATEEKERA EKIBUGA MASAKA EYAKWATIDDWA ATWALIBWA MU KKOOTI Y’ABALYAKE appeared first on News Editor.

]]>
EKIF: Martin Kigozi eyakwatiddwa ajjukirwa lweyakola effujjo ku baweereza ba Kabaka aba Buganda Land Board

Bya Meddie Kityo
MASAKA
NEWS EDITOR MEDIA

EBYA Martin Kigozi ateekerateekera ekibuga Masaka eyakwatiddwa ku Lwokutaano bibi! 
Ono ayolekedde okusimbibwa mu kkooti y’abalyake n’abali b’enguzi, nga bakumusoosa mu kakiiko ka State House akanoonyereza ku bulyake n’obuli bw’enguzi, bamukunye ku mivuyo ne ddiiru z’azze yenyigiramu ng’akozesa ofiisi ye.
Ab’ebyokwerinda e Masaka nga bakolera ku biragiro bya Ronald Katende Kinene omubaka wa Pulezidenti atwala ekibuga Masaka baakutte Martin Kigozi abeeko by’annyonnyola Poliisi.
Kyaddiridde akakiiko k’ebyenguudo mu Masaka okukizuula nti abadde akozesa ofiisi ye okutunda ettaka ly’ebibangirizi by’enguundo abantu nebazimbamu amayumba ye loodi ne yeeyoolera omusimbi wadde ye Kigozi abyewakana! 
RCC Katende yeyalagidde Poliisi okuggalira Martin Kigozi oluvannyuma lw’akakiiko k’enguudo okulemesebwa okulambula ezimu ku nguudo abagagga nga bagamba Martin Kigozi yabawa dda ppulaani bazimbemu ebizimbe, ekyaggye ab’akakiiko mu mbeera. 
Kwekutemya ku RCC Katende era bino olwamugudde mu matu, kwekuwa poliisi ebiragiro, Kigozi akwatibwe mu bwangu. 

KIKI EKYABADDEWO
Dr. Abed Bwanika, omubaka wa Palamenti akiikirira Kimanya-Kabonera nga y’akulira akakiiko k’ebyenguudo mu kibuga Masaka yasoose kulemesa omugagga eyabadde azimba ekisenge okuziba oluguudo olumanyiddwa nga Nalubaale Road.
Dr. Abed Bwanika n’abakakiiko ke baaguddewo ekigwo, omugagga bweyabagyiddeyo ppulaani emukkiriza okuzimba mu luguudo wakati nga Kigozi yeyagiyisa. Akakiiko kwekumukubira essimu ajje abitebye.
Olwazze, Kigozi yagezezzaako okupalappalanya nga by’ayogera tebigatta, ekyaggye meeya Florence Namayanja mu mbeera, n’abakakiiko k’ebyenguudo.
Meeya Namayanja yagambye, akakiiko akateekerateekera ekibuga ssaako ofiisi ye, baasazaamu ppulaani z’okuzimba mu ppulooti ez’ekimpatiira kyokka ekyabeewunyisa ate ye Kigozi okubayisaamu olugaayu n’agaba olukusa bazizimbemu.
Era wano Kigozi teyasusseewo, n’akwatibwa. 
Kigozi aludde ng’asongebwamu olunwe ku by’okukuba ddiiru bw’eziti nga ku luno, ddiiru y’ekkubo eriyita awo ku Sauna okutuuka ku club ya Ambiance ye yamulakidde ne bamuyoola.
Kigambibwa Kigozi ekkubo yaliguzizza omuggagga omu (amannya gasirikiddwa) ng’ono ekkubo yalizimbyemu n’ekisenge kya bbulooka z’omusenyu ezimanyiddwa nga ‘99’.
Ng’oggyeeko ebigambibwa nti atunda ebibangirizi by’engundo, kigambibwa nti Kagozi abadde amazeewo buli kifo ekyalekebwawo omubeera omuddo kyebayita ‘green belts’ omuntu wayinza okuwummulira byona nga yekobaana n’abaggagga ne bakyusa entekateeka y’ebifo ebyo.
Ebimu ku bifo by’alumirizibwa okwekobaana n’atunda kwe kuli Mutuba Gardens eziri mu maaso ga Hotel Brovad ne Mapple Leaf wamu n’ekibangirizi kya Liberation square e Katwe nga kyonna abagagga baakikubako dda zi poloti okukyetoloola newasigalawo kawugiro. 
Ekibangirizi ekya golf course nakyo abagaggga bakimalawo dda nga yabaguza ng’akolagana n’olukiiko lw’ettaka mu Masaka.
Mu ngeri y’emu, ekibangirizi ekyali eky’abaana webazanyira kati awaatekebwa akatale mu ngeri y’ekigumaaza, waliwo omugagga ayogerwako nti agenda kuzimbawo ebizimbe.
Kigozi we baamukwatidde nga n’ekisaawe kya Masaka recreation ground nakyo abadde mu kkobaane okutundako zi poloti okukyetolola.
Ngojjeeko bino, Martin Kigozi yomu abade asasuza abantu ssente okubayisizamu ‘plan’ z’okuzimba amayumba gabwe nga Seem Ssempappe ono, tayinza kuyisa ppulaani nga tomuwadde ekitino ennyo, kakadde.
tewali plan eyita eri wansi wa kakadde kyokka nga bw’omusaba lisiiti okulaga nti osasudde, awoza mbu ssente ziba za minisita wa bibuga ne meeya.

KIGOZI LWE YAKOLA EFFUJJO KU BAWEEREZA BA KABAKA
Martin Kigozi ono, emabegako awo, yayingirira ettaka ly’Obwakabaka n’akola effujjo ku baweereza ba Ssaabssajja ng’abalemesa okwerula empenda zaalyo mu kifo ekimanyiddwa nga Kyakumpi.
Kigozi yayogerwako ng’eyali mu kkobaane ly’okugingirira ebyapa n’okulikyusa litundibwe ng’alifula lirye. 
Yakulemberamu poliisi okuswaza abakoozi b’Embuga ne batuuzibwa mu ttaka era mayor Namayanja bweyamukubira essimu okukomya ejjoogo ku baweereza ba Kabaka, yamuddamu na bboggo nti amwesonyiwe si yeyamuwa omulimu.

YAKOLA KAMPUNI Y’EKIMPATIIRA
Kigozi Martin yabadde akoze kampuni ey’ekimpatiira n’ewebwa omulimu gw’okukwatanga bannamasaka abatalina zi ppulaani z’amayumba gabwe. 
Kampuni eno ebadde yiye nga mukyalawe y’agikulira era enyagulude abantu bangi. Abantu babade bagenda mu yafesi ye ayisemu ppulaani zaabwe n’agaana nakulinda nozimba najja n’akukwata ng’okukuta omala kusasula sente mpitirivu.
Ono kati asigalidde kutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe okukozesa obubi wofiisi ye.

WAKUKUNYIZIBWA AKAKIIKO KA STATE HOUSE AKALWANYISA OBULYAKE
Okuleka okukola sitatimenti ku poliisi, Kigozi ayolekedde okugasimbagana n’abakakiiko ka State House akalwanyisa obulyake ssaako ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti ku bya ddiiru z’ebibangirizi by’enguudo n’okugaba ppulaani ez’ebicupuli.
Akakiiko akateekerateekera ekibuga kaasazeewo okuyimiriza buli Kigozi gwe yali yawa olukusa okizimba mu kifo ekiriko akabuza, ayimirize okuzimba okutuusa ng’akakiiko akeetegereza ebizimbe mu kibuga, kaasazeewo eky’enkomeredde.

E MASAKA BAAGALA KIGOZI AGOBWE
Akakiiko era kaagala minisitule y’abakozi okubawa ateekerateekera ekibuga Masaka omupya, Kigozi ddiiru agende azikutulire ewalala.

Olina ky’oteesa ku ggulire lino? Weereza ekirowoozo kyo ku WhatsApp 0772523039

The post BIRANZE: MARTIN KIGOZI ATEEKERATEEKERA EKIBUGA MASAKA EYAKWATIDDWA ATWALIBWA MU KKOOTI Y’ABALYAKE appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/06/biranze-martin-kigozi-ateekerateekera-ekibuga-masaka-eyakwatiddwa-atwalibwa-mu-kkooti-yabalyake/feed/ 0
NATHAN KAGGWA ABADDE SSAABADDU W’EGGOMBOLOLA Y’E KIRA AGOBEDDWA LWA KUBBA TTAKA LYA KABAKA https://www.newseditor.co.ug/2022/06/nathan-kaggwa-abadde-ssaabaddu-weggombolola-ye-kira-agobeddwa-lwa-kubba-ttaka-lya-kabaka/ https://www.newseditor.co.ug/2022/06/nathan-kaggwa-abadde-ssaabaddu-weggombolola-ye-kira-agobeddwa-lwa-kubba-ttaka-lya-kabaka/#respond Sat, 11 Jun 2022 14:09:47 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=7945 Abasirikale nga bakutte abadde Ssaabaddu w’e Kira, Nathan Kaggwa Kasibante (Ekif. kya NTV) BYA EMMA MUGEJJERABULANGE- MENGONEWS EDITOR MEDIA OBWAKABAKA bufuumudde Nathan Kaggwa abadde ow’Eggombolola Ssaabaddu, Kira, mu Ssaza lya Kabaka erya Kyaddondo ng’alangibwa bwa mawale, obunyoomi n’okwekobaana n’ababba ettaka ly’Embuga y’eggombolola.Ono yasoose kukwatibwa ku Lwokuna ab’akakiiko ka Anti-Corruption Unit – State House nga bali […]

The post NATHAN KAGGWA ABADDE SSAABADDU W’EGGOMBOLOLA Y’E KIRA AGOBEDDWA LWA KUBBA TTAKA LYA KABAKA appeared first on News Editor.

]]>
Abasirikale nga bakutte abadde Ssaabaddu w’e Kira, Nathan Kaggwa Kasibante (Ekif. kya NTV)

BYA EMMA MUGEJJERA
BULANGE- MENGO
NEWS EDITOR MEDIA

OBWAKABAKA bufuumudde Nathan Kaggwa abadde ow’Eggombolola Ssaabaddu, Kira, mu Ssaza lya Kabaka erya Kyaddondo ng’alangibwa bwa mawale, obunyoomi n’okwekobaana n’ababba ettaka ly’Embuga y’eggombolola.
Ono yasoose kukwatibwa ku Lwokuna ab’akakiiko ka Anti-Corruption Unit – State House nga bali wamu n’aba Office of the President Special Task Force – Land Matters & Environment, oluvannyuma lw’Obwakabaka okwekubira enduulu ku kkobaane erigenda mu maaso e Kira, ku basaatuukira n’okubba ettaka lya Kabaka eriwezaako yiika 46.
Nathan Kaggwa Kasibante eyalibadde omusaale mu kukuuma ettaka ly’Embuga ate yeyeekobaana n’abasatuusi bakole olukujjukujju babbe ettaka lya Kabaka. 
Yazze yekaliisa ng’ettundutundu lya yiika ssatu eryasendeddwa nga bayiyeewo n’omusenyu bw’agenda okukulaakulanyaawo kyokka nga bw’abuuzibwa ani yamuwadde olukusa, tanyegwa. Kwekukwatibwa agende abitebye. 
Kati no olunaku lw’eggulo, Nathan Kaggwa yayimiriziddwa ku bwa Ssaabaddu e Kira, ye n’olukiiko lwe ne bafumuulwa. Wabula ag’omunda gagamba, ono obwa mawaggali, obwa mawale n’okwagala okubba ettaka ly’Embuga ye kanaaluzaala.
Mu bbaluwa eyawandiikiddwa munnakateeka Owek. Christopher Bwanika, Ssaabawolereza wa Gavumenti ya Kabaka era minisita wa Gavumenti ez’ebitundu, Kaggwa yalagiddwa okuddako ebbali n’olukiiko oluliwo (Executive) kisobozese Obwakabaka okwekenneenya emivuyo n’emirerembe ku ttaka ly’eggombolola bye yenyigiddemu.

Ebbaluwa yaweereddwako kkopi; Katikkiro, Omumyuuka asooka owa Katikkiro, Omumyuuka ow’okubiri owa Katikkiro, Minisitule w’Olukiiko, Kabineeti n’Amawulire, Minisita w’Ettaka, Obulimi ne Bulungibwansi, Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu, Kaggo, Omumyuuka asooka owa Kaggo, Omumyuuka owookubiri owa Kaggo, Ssenkulu wa Buganda Land Board ne Ssenkulu Namulondo Investments Ltd.
Abalala abagifunyeeko kkopi ye; Ssaabadduumizi wa Poliisi, Regional Police Commander  (KMP), Anti-Corruption Unit – State House, Office of the President Special Task Force – Land Matters & Environment, RDC Kira Municipality, DPC Kira Police Station ne DISO Kira Municipality.

YIINO EBBALUWA MU BUJJUVU:
Nkulamusizza nnyo era nkwebaza emirimu gy’oweereza mu Bwakabaka okuva Ssaabasajja lweyakulonda okukulembera Eggombolola Ssaabaddu Kira nga 07/09/2021.
Ku nsonga eyo waggulu, njagala okukutegeeza mu butongole nti okuva olwaleero nga 10 Ssebaaseka 2022 osabiddwa okuddako ebbali n’olukiiko oluliwo (Executive) kisobozese Obwakabaka okwekenneenya emivuyo n’emirerembe ku ttaka ly’eggombolola bye wenyigiddemu.

Kirambikiddwa bulungi mu nkola z’Obwakabaka ne mu buvunanyizibwa obwakukwasibwa nti tosobola kwesalirawo ku nkulaakulana y’egombolola nga toyise mu mitendera n’okulambikibwa minisitule ekutwala.
Mu ebyo byonna ebibade bigenda mu maaso ku mbuga y’Eggombolola Ssaabaddu Kira, owabuddwa enfunda eziwera era enkiiko ezakasembayo, lwe lwa nga 02/06/2022 olwatuuzibwa minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu mu ofiisi ye ate n’olwa nga 08/06/2022 olwatuuzibwa Owek. Pulof. Twaha Kaawaase omumyuuka asooka owa Katikkiro mu offisi ye, naye ggwe ng’okola by’oyagala.
Awo no, okunonyereza kugenda mu maaso era ebinavaamu kwe kuneesigamizibwa eby’enkomeredde ebinaakutegeezebwa mu butongole.
Mu kiseera kino, Ow’essaza Kaggo y’akwasiddwa obuvunanyizibwa bw’Eggombolola n’omumyuuka we asooka Haji Ahmed Magandaazi okutambuza emirimu gy’Eggombolola obutereevu n’okulaba nga waliwo obutebenkevu ku Mbuga era teweyongera kukolebwako mirimu gitakkiriziddwa.
Era olwokuba ensonga zaloopeddwa ku Poliisi ne mu b’obuyinza abalala, okusalimbira ku Mbuga kijja kuleetera oyo yenna atakkiriziddwa kukolerako mu butongole, okukwatibwa n’okusibibwa.
Ssaabasajja Kabaka Awangaale.

Olina ky’oteesa ku ggulire lino? Weereza obubaka ku WhatsApp 0772523039

The post NATHAN KAGGWA ABADDE SSAABADDU W’EGGOMBOLOLA Y’E KIRA AGOBEDDWA LWA KUBBA TTAKA LYA KABAKA appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/06/nathan-kaggwa-abadde-ssaabaddu-weggombolola-ye-kira-agobeddwa-lwa-kubba-ttaka-lya-kabaka/feed/ 0
DDIIRU EPANGIBWA WAKATI W’ABANENE BA NRM N’ABABAKA SSEGIRINYA NE SSEWANYANA ABALI MU KKOMERA E KIGO EKANZE BOBI WINE https://www.newseditor.co.ug/2022/04/ddiiru-epangibwa-wakati-wabanene-ba-nrm-nababaka-ssegirinya-ne-ssewanyana-abali-mu-kkomera-e-kigo-ekanze-bobi-wine/ https://www.newseditor.co.ug/2022/04/ddiiru-epangibwa-wakati-wabanene-ba-nrm-nababaka-ssegirinya-ne-ssewanyana-abali-mu-kkomera-e-kigo-ekanze-bobi-wine/#respond Mon, 18 Apr 2022 13:41:33 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=7348 Ekif: Maama wa Ssegirinya ng’afuna ssente obukadde butaano mu ofiisi ya Sipiika Anita Among ● Biyingiziddwaamu Sipiika Anita Among eyawadde kavu bakyala b’abasibe● Ddiiru erimu okwegaana Kyagulanyi olwo balyoke bayimbulwe● Abasibe ababiri bagaanyi abakulira NUP okutwala obuyambi mu maka gabwe● NUP nayo tetudde, esonze ku Fredrick Lubwama gwereeta mu kya Ssegirinya● Mu Makindye West, NUP […]

The post DDIIRU EPANGIBWA WAKATI W’ABANENE BA NRM N’ABABAKA SSEGIRINYA NE SSEWANYANA ABALI MU KKOMERA E KIGO EKANZE BOBI WINE appeared first on News Editor.

]]>
Ekif: Maama wa Ssegirinya ng’afuna ssente obukadde butaano mu ofiisi ya Sipiika Anita Among

● Biyingiziddwaamu Sipiika Anita Among eyawadde kavu bakyala b’abasibe
● Ddiiru erimu okwegaana Kyagulanyi olwo balyoke bayimbulwe
● Abasibe ababiri bagaanyi abakulira NUP okutwala obuyambi mu maka gabwe
● NUP nayo tetudde, esonze ku Fredrick Lubwama gwereeta mu kya Ssegirinya
● Mu Makindye West, NUP esibidde ku Haji Farouk Ntege era aweereddwa eburagiro ebipya

Bya Moses Mugalula 
KAMWOKYA
NEWS EDITOR MEDIA

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) ekikulirwa Hon. Robert Ssentamu Kyagulanyi kigudde mu lukwe olupangobwa wakati w’ababaka bakyo ababiri abaasibwa okuli Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana amanyiddwa nga ‘Bwino’ owa Makindye West nga lupangiddwa n’abanene mu NRM!
Ddiiru epangibwa, y’ababaka bano ababiri okwegaana NUP n’omukulembeze waayo Robert Kyagulanyi, olwo balyoke bayimbulwe.
Byonna ebipamgibwa, kigambibwa birimu omukono gwa sipiika wa Palamenti Anita Among nga kino kyesigamizibwa ku kyabaddewo ennaku ezo, bweyayise bakyala b’abasibe ababiri ssako maama wa Ssegirinya, buli omu n’amuwa obukadde butaano bagende beekubeko enfuufu!
Bino byabadde ku offiisi ya Sipiika esangibwa ku Palamenti.
Abasibe ababiri basoose kugobwa buyambi abakulu mu NUP okwabadde Ssabawandiisi Lewis Rubongoya bwe baabadde babatwalidde mu kkomera e Kigo okwabadde n’essente enkalu ate ne babalagira, tebageza ne balinnya mu maka gabwe nti batwalayo buyambi, bo bakoowu!
Tewali kyewunyisizza Rubongoya n’abakulu mu NUP nga Ssegirinya ne Ssewanyana kubagoba, kyokka tewaayise na lunaku, bakyala b’abasibe bano ne balabibwa mu ofiisi ya Sipiika Anita Among nga bakeasibwa akavangata bonna nga basanyufu era okufuluma ku Palamenti, bagenze bakuumibwa ba mmundu.
Kati abakulu mu NUP batiddemu ku kigenda mu maaso wakati w’ababaka bano ababiri n’ebikonge mu NRM era oluvuvuumo oluyitingana nti Ssegirinya ne Ssewanyana baliyimbulwa essaawa yonna batandike okugusambira mu NRM, NUP eganye okulutwala ng’olwolusaago!
Ekibiina kitandise okunonyereza ku nkolagana y’ababaka babwe abasibe ne Sipiika Anita Among amanyikiddwa nga bituli bingi wa NRM atumibwa ku misoni ensajja.
Eby’omunda bigamba, bano essaawa yonne balikkirizibwa okweyimirirwa badde mu Palamenti kyokka aliddamu okubalaba mu nteekateeka za Kyagulanyi ne NUP, aliba mwana wa mwana!
Okusinziira ku lukwe olupangibwa,  bano olunayimulwa, baluddusibwa mu malwaliro ebweru okwekebeggyebwa nga byonna gavumenti y’egenda okubisasulira mu ngeri y’okukyokooza aba NUP abeekalakaasiza mu ggwanga ly’America olw’eyali Sipiika Jacob Oulanyah kati omugenzi, eyatwalibwa okujjanjabibwa mu ggwanga eryo nga bagamba, yalisigaddeyo Uganda.
Akaseera ababaka bano ke banaamala nga beetawula mu malwaliro ebweru, kijja kutta omudigido aba NUP gwe baali basuubira nga bayimbuddwa.
N’olwekyo abawagizi ba Ssegirinya ne Ssewanyana ababadde babasuubira okukomawo bajanjawaze eby’obufuzi, ebyo byammwe! Bali mubasuubire okuva e Kigo nga bantu balala nnyo, ne bw’obalinnyako nga tebayinza kwenyeenya! 
Eyo ye ddiiru epangibwa wakati w’ababaka ababiri abasibwa Ssegirinya ne Ssewanyana ko ne Gavumenti ya NRM, abakulu mu NUP gyebaaguddemu edda!

NUP EZZAAKO KI
Okuleka eby’okunonyereza ku ddiiru eno, ekibiina kya NUP kitandise okuteekateeka abanadda mu bifo bino era okwogerezeganya nabo n’okubaako emirimu emitongole gyebatumwako kyatandise dda!
Bano ekibiina kibawadde obuvunanyizibwa obw’enjawulo kibayambeko okwongera okusimba amakanda era ng’okulonda wekunaatuukira, bamenya mu jjenje kkalu.

FREDRICK LUBWAMA ASONGEDDWAKO MU KYA SSEGIRINYA
W’osomera bino ng’ono yatandise dda n’okutuuza enkiiko ssaako okuyitibwa ku mikolo egy’enjawulo mu Kawempe North.
Ekibiina kyamutisse eddiimu ly’okukwanaganya abawagizi ba NUP e Bungereza ng’omubaka ow’enjawulo mu ofiisi ya Pulezidenti Robert Ssentamu Kyagulanyi.
Fredrick Lubwama muyivu bano ab’ebbaluwa ate nga tayesezza mpiki za byabufuzi bitooke by’ebigwa! 
Ajjukirwa nnyo mu UYD ng’akyali Makerere University ng’omu ku bamusaayimuto abaali abakulembeze b’abayizi nga tayogedde, bitooke bye bigwa!

Mu by’obufuzi bya Kawempe North mumanyifu nga y’avuganyako ku bubaka bwa Palamenti n’akola bulungi yadde nga bamuwangulira watono webagamba awaalema ekkere okubuuka!
Abakulu mu NUP basonze ku Mw. Fredrick Lubwama ku by’okumuleeta ku ky’omubaka wa Kawempe North emirimu Ssegirinya.
Lubwama yakuguka mu bya tekinologiya mu mafuta era mugagga atanoonya mulimu wabula okuweereza abantu b’e Kawempe North.
Waabaddewo abagamba omukisa guweebwe Sulaiman Kidandala oba okukomyawo Latif Sebaggala Ssengendo kyokka ababiri bano akasengejja kaabawandudde. 
Abakulu mu NUP batunuulidde Hon. Latif okuba ng’abadde ku bwa MP bw’ekitundu kino okumala ebisanja ebiwerako ate nga ne mu kulonda okuwedue,  yagyeemera ekibiina ne yeesimbawo obwanamunigina. NUP si nneetegefu kukomyawo Latif Sebaggala. 
Ate ye Sulaiman Kidandala eyawawaabira Ssegirinya nti teyasoma, ye, Lubega Mukaaku ne Micheal Mabikke beegatta dda ku kisinde kya Dr. Besigye ekya ‘Red card’, ekigambibwa okujja kirwanyise NUP.
Kidandala naye yasuuliddwa era ku bannakibiina abasonyiyiddwa NUP olw’okwesimbawo obwannamunigina mu kulonda okuwedde ne bakomezebwawo mu kibiina, ono ne banne Mukaaku ne Mabikke tebaliiko. 
Kidandala ne Latif Sebaggala balabibwa nga bakyewaggula, abatakyayinza kumalagakkirizibwa kudda.

EBITINOTONO KU FREDRICK LUBWAMA
● Mutabani w’omwami n’omukyala Daniel Mayombwe abo mu Kitambuza Zone III , Kanyanya Parish, Kawempe Division. Eno gyeyakulira. 
● Fred Lubwama okusoma yakutandikira ku Bat Valley Primary School, n’agenda mu Namilyango College, Caltec Academy, Makerere University, Aptec Worldwide School of Computing ne Northern Alberta institute of technology. 
● Mufumbo alina abaana bana
● Akolera mu kkolero lya Gas ne Oil mu Canada. 
● Ye pulezidenti wa bannayiganda bonna ababeera mu kibuga Alberta, Canada.
● Yaliko  omumyuuka wa ssentebe w’abayizi ba UYD Makerere University okuva mu 2001-2002.
● Yaliko minisita w’abayizi e Makerere era ng’abayizi bamulondako ku buvunanyizibwa obuwerako.
● Yalondebwako ku bwassabawandiisi bwa DP mu muluka gw’e Kanyanya 
● Okuva mu 2002-2008 yali General Secretary w’olukiiko lw’abavubuka mu Kampala.

HAJI FAROUK NTEGE AJJA MU KYA SSEWANYANA
E Makindye West, buli kimu kitambula bulungi okulaba nga Haji Farouk Ntege aleetebwa mu kifo kya Ssewanyana.
Mu kulonda okuwedde, kaabula kata kaadi ya NUP Haji Farouk agitwale era bangi bagamba, Ssewanyana yasala nsawo.
Nga tannakwatibwa, Ssewanyana yali ayise bannamawulire n’abategeeza nga ye bwatajja kukomerawo ku kaadi ya NUP mu 2026.
Ebintu bibadde tebitambulira bulungi Ssewanyana mu NUP nga bangi bamutankana olwobutaba muwulize eri kibiina kye nga bakimussaako nti atagalatagala nnyo.

Bino ebya ddiiru n’abanene mu NRM olwazze, aba NUP ne bagulaba ng’omukisa, Ssewanyana oba abaviira, abaviire.
W’osomera bino nga NUP yalonze Haji Farouk ku lukiiko lwa ‘Kunga’ olwa Kampala yonna, asaggulire NUP obuwagizi.
Haji Ntege musajja muyivu, mukozi nnyo, mugagga ate mugabi ng’ejjenje. 
Tekyewunyisa NUP kuba nga gwesibiddeko olukoba ku bwa MP bwa Makindye West.

Olina ekiteeso kyonna ku ggulire lino? Yogerako ne Editor ku WhatsApp 0772 523 039

The post DDIIRU EPANGIBWA WAKATI W’ABANENE BA NRM N’ABABAKA SSEGIRINYA NE SSEWANYANA ABALI MU KKOMERA E KIGO EKANZE BOBI WINE appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/04/ddiiru-epangibwa-wakati-wabanene-ba-nrm-nababaka-ssegirinya-ne-ssewanyana-abali-mu-kkomera-e-kigo-ekanze-bobi-wine/feed/ 0
ENGERI LANDILOODI MABANO GYE GAMUMYUUKIDDE MU LUKIIKO LW’ABASUUBUZI B’ENTE ADUUMIRA POLIISI LWEYAYISE MU LUFULA Y’E NAKUWADDE – BBIRA, MASANAFU https://www.newseditor.co.ug/2022/04/engeri-landiloodi-mabano-gye-gamumyuukidde-mu-lukiiko-lwabasuubuzi-bente-aduumira-poliisi-lweyayise-mu-lufula-ye-nakuwadde-bbira-masanafu/ https://www.newseditor.co.ug/2022/04/engeri-landiloodi-mabano-gye-gamumyuukidde-mu-lukiiko-lwabasuubuzi-bente-aduumira-poliisi-lweyayise-mu-lufula-ye-nakuwadde-bbira-masanafu/#respond Sat, 16 Apr 2022 04:19:18 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=7330 Omusuubuzi omututumufu Abby Mugumba ng’annyonnyola RPC Nkulega ku ngeri landiloodi Mabano gy’aleetamu emivuyo mu lufula atabangule emirimu gyabwe Bya Meddie KityoWAKISONEWS EDITOR MEDIA WAABADDEWO katemba mu lufula esangibwa wali e Nakuwadde-Bbira, masanafu ku kkubo eridda e Ssentema, abasuubuzi abaabadde bakunukkiriza mu 2000 bwe baasinzidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwayitiddwa afande Peter Nkulega aduumira Poliisi mu bbendobendo […]

The post ENGERI LANDILOODI MABANO GYE GAMUMYUUKIDDE MU LUKIIKO LW’ABASUUBUZI B’ENTE ADUUMIRA POLIISI LWEYAYISE MU LUFULA Y’E NAKUWADDE – BBIRA, MASANAFU appeared first on News Editor.

]]>
Omusuubuzi omututumufu Abby Mugumba ng’annyonnyola RPC Nkulega ku ngeri landiloodi Mabano gy’aleetamu emivuyo mu lufula atabangule emirimu gyabwe

Bya Meddie Kityo
WAKISO
NEWS EDITOR MEDIA

WAABADDEWO katemba mu lufula esangibwa wali e Nakuwadde-Bbira, masanafu ku kkubo eridda e Ssentema, abasuubuzi abaabadde bakunukkiriza mu 2000 bwe baasinzidde mu lukiiko lw’ebyokwerinda olwayitiddwa afande Peter Nkulega aduumira Poliisi mu bbendobendo ly’amambuka ga Kampala ne baatulira Godwin Mabano nnyinittaka okutudde lufula eno okuba emabega w’okupangisa bakanyama atabangule emirimu gyabwe!
Ono bakira aseka mu ngeri ey’amagyeemulukufu, abasuubuzi baamulumiririzza mu maaso ga RPC Nkulega ng’omululu bwegumutawaanya nga mu kifo ky’okukkuta ssente zebakkanyaako mu ndagaano y’obupangisa ey’emyaka 25, azze akola omupango okutabangula ekifo kino, asobole okweddiza omulimu gwabwe.
RPC Nkulega, omumyuuka we Charles Nsaba, DPC wa Wakiso ayitibwa Tai n’abakulu ba poliisi abalala, landiloodi Godwin Mabano yasoose kubefuunza n’abalambuza ekisenge ku lufula awagenda okussibwa Poliisi oluvannyuma n’abatwala mu kisenge weyategese boogereko n’abasuubuzi kyokka ng’obutebe bukalu! 

RPC olwamubuuzizza lwaki abasuubuzi beesambye olukiiko ko landiloodi Mabano nti babuzaabuziddwa abakulembeze baabwe okuli Ssentebe John Kariisa, Godfrey Kyazze, Patrick Bampabula, Luyombya n’abalala.
Wabula RPC Nkulega olwalabye nga by’ateekwa okubuulira abasuuuzi ate abigamba butebe, kwekuyimiriza olukiiko n’agamba bafulume banoonye abasuubuzi gyebali. 
Abasuuuzi olwakitegedde nti olukiiko lwa Mabano luyiise, bo kwekukunga olwabwe era mu ddakiika nga kkumi, ng’ekifo webaategese olukiiko kyonna kibooze.
RPC Nkulega yatuukidde mu mizira kyokka kino tekyagaanyi kusooka kumunenya okubuzibwabuzibwa Mabano so nga talina buyinza bwonna ku basuubuzi.
Nkulega mu kubaanukula yagambye, “Tubadde tuteekwa okubanoonya tbannyonnyole ekituleese. Tetuzze mu bya ndoliito zammwe, tuggyiridde nsonga za byakwerinda kw’ekifo kino naddala nga tuyingira ebikujjuko bya Paasika ne Eid. Tugenda kunyweza eby’okwerinda by’ekifo kino nga tussamu poliisi era tujja kuyambibwako amagye ga UPDF!”
Yategeezezza abasuubuzi ba lufula nga Uganda bw’etambulira ku nfuga y’amateeka, “Ffe omulimu gwaffe kuteeka mateeka mu nkola. Bw’ozza omusango, nze bwenzija okukukwata tonyiigira nze, mba nkozesa tteeka.Tuzze kubakunga mwewale obuzzi bw’emisango, okuleeta abakolera wano okulwanirawo n’obwakirereese.”
Yalabudde abaagala okukola omuvuyo mu lufula nti bagenda kubakolako.
Abasuubuzi abakulembeddwamu Abbey Mugumba bannyonnyodde poliisi nga bo bwe bali abantu ab’emirembe, obudde bwe balina bwakunyweza mulimu gwabwe kyokka landiloodi Mabano y’apangisa abakozi b’efujjo batabangule omulimu gwabwe.
Mugumba basuubuzi banne gwe bawagidde ennyo yagambye, “Alipoota z’ebyokwerinda ezimu ezikolebwa nga ziraga ffe abasuubuzi tuteekateeka obutabanguko wano,  bya bulimba, bipangibwa landiloodi waffe Mabano atubbeko omulimu gwaffe kyetutalikkiriza. Tuli bantu ba mirembe era poliisi tugyanirizza mugireete wano mujja kwekanga nga Mabano ne basajjabe bebakwatiddwa mu buzzi bw’emisango n’okutabangula ekifo kino.”
Yayogedde ku bakirereese Afande Nkulega beyayogeddeko, Mugumba n’agamba bo buli gwebalina musuubuzi era ekifo kyabwe kikola essaawa 24.
Bino bakira bigenda mu maaso ng’abasuubuzi bakuba enduulu ey’oluleekereeke nga balaga obuwagizi eri kkampuni ya Wakiso City Slaughter House (U) Ltd egatta abasuubuzi bonna era nga yeyakola endagaano ne Mabano, nnyinittaka.
Gyebyaggweredde ng’abasuubuzi bakikubye, bamatizza poliisi nga bwebatalina lutalo lwonna era bakuuma mulimu gwabwe.
Afande Nkulega yalagidde abakozi bonna abakolera mu lufula bawandiikibwe, ekyabasanyusizza ne bagamba kijja kubayamba okumanya obulungi abakozi b’efujjo abapangisibwa Landiloodi Mabano bajje batabangule ekifo.

Olukiiko olwawedde, abasuubuzi ne batandika okuyisa ebivvulu okwebaza abakulembeze baabwe olw’obukulembeze obulungi, nga bwe basaba abakuumaddembe obutaddamu kkozesebwa abalwanyisa omulimu gwabwe, ne babakwatira obwemage n’okubaggulako ebisangosango.

Alina ky’oteesa ku ggulire lino, weereza obubaka bwo ku www.newseditor.info@gmail.com

The post ENGERI LANDILOODI MABANO GYE GAMUMYUUKIDDE MU LUKIIKO LW’ABASUUBUZI B’ENTE ADUUMIRA POLIISI LWEYAYISE MU LUFULA Y’E NAKUWADDE – BBIRA, MASANAFU appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/04/engeri-landiloodi-mabano-gye-gamumyuukidde-mu-lukiiko-lwabasuubuzi-bente-aduumira-poliisi-lweyayise-mu-lufula-ye-nakuwadde-bbira-masanafu/feed/ 0
OMUSAAYI E LUWEERO! WUUNO OMUGAGGA KIGABA GWE BALUMIRIZA OKUSINDIKA ABEBIJAMBIYA BATEMETEME ABATUUZE KU BYALO BISATU ABABBEKO ETTAKA https://www.newseditor.co.ug/2022/03/omusaayi-e-luweero-wuuno-omugagga-kigaba-gwe-balumiriza-okusindika-abebijambiya-batemeteme-abatuuze-ku-byalo-bisatu-ababbeko-ettaka/ https://www.newseditor.co.ug/2022/03/omusaayi-e-luweero-wuuno-omugagga-kigaba-gwe-balumiriza-okusindika-abebijambiya-batemeteme-abatuuze-ku-byalo-bisatu-ababbeko-ettaka/#respond Thu, 10 Mar 2022 12:15:04 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=6861 EKIFANAANYI: Omutuuze attulukuka omusaayi oluvannyuma lw’okutemebwa basajja ba Kigaba ● Asooka kuta nte ne zi baliira emisiri gy’emmere n’ebitooke, batere beegobe● Poliisi ebagamba yo Kigaba emutya teyinza a kumukwata bagume● Abantu teri abayamba, amayumba baagadduseemu, basula mu nsiko● Bayise Pulezidenti abiyingiremu, oba si kyo berwaneko Bya Emma SsejjaakaKIKYUUSA, LUWEERONEWS EDITOR MEDIA EBIRI ku byalo okuli […]

The post OMUSAAYI E LUWEERO! WUUNO OMUGAGGA KIGABA GWE BALUMIRIZA OKUSINDIKA ABEBIJAMBIYA BATEMETEME ABATUUZE KU BYALO BISATU ABABBEKO ETTAKA appeared first on News Editor.

]]>
EKIFANAANYI: Omutuuze attulukuka omusaayi oluvannyuma lw’okutemebwa basajja ba Kigaba

● Asooka kuta nte ne zi baliira emisiri gy’emmere n’ebitooke, batere beegobe
● Poliisi ebagamba yo Kigaba emutya teyinza a kumukwata bagume
● Abantu teri abayamba, amayumba baagadduseemu, basula mu nsiko
● Bayise Pulezidenti abiyingiremu, oba si kyo berwaneko

Bya Emma Ssejjaaka
KIKYUUSA, LUWEERO
NEWS EDITOR MEDIA

EBIRI ku byalo okuli Kyampologoma, Kakoola, Nakasejjere ne Namuningi mu muluka gw’e Kaswa, Kikyuusa mu disitulikiti y’e Luweero awaali olutalo olwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza si birungi, abatuuze abali eyo mu bikumi basula ku tebuikya olw’omugagga Kigaba Bukenya abafuukidde ekyambika! 

Bamulumiriza okubasindikira bakifeesi emisanattuku nga bali mu nnimiro ne babatema n’okubakuba emiggo, oluusi babazinduukiririza eyo mu matumbi budde ne babakuba nnyo, nga kuno kw’otadde okubakolako efujjo, bw’ata ente ze eziri eyo mu 600 nezirya emmere mu misiri gy’abatuuze gyonna okugikaliza, ssaako n’okukkakkana ku nsuku ebitooke ne zibirya!
Okumanya Kigaba ajooze abatuuze n’ayitawo, bwe kabatanda ne mumuloopa ku poliisi, ajja n’omusaayi mu kaveera n’ategeeza poliisi ng’abamuwawaabidde bwe baasaze ente ze n’ezimu ne bazibuzaawo, olwo mmwe abazze okuloopa ng’ate muggalirwa mu kaduukulu okutuusa nga muliyiridde kalibujoozi Kigaba oba si kyo, nga muli bakuvundirayo.
Abantu abasibiddwa ku biragiro bya Kigaba tobala, abatuuze batugambye Poliisi okuli ey’e Kamira n’e Kikyuusa mu Luweero omwami ono zimutwala nga Katonda, singa ente ze zikuliira emmere sirika busirisi kuba oli takwatibwako, gowe amuggulako omusango are gowe akwatibwa!
Abatuuze betwayogeddeko nabo batugambye, Pulezidenti Museveni bamusaba ajje e Luweero abataase ku kalittima Kigaba kuba abakulembeze b’ebitundu, omubaka wa Pulezidenti e Luweero ne poliisi, bazinira ku ntoli za Kigaba!

Ono ettaka ly’asongako bagamba aba alyagala era akola buli kimu okulyezza nga mwemuli okusindika basajjabe ne bamenyawo enju yo ate nga tolina wa kumuloopa!
Waliwo omusuubuzi wo mu Kampala Haji Ibrahim Lumu, ono enju ye,  Kigaba yamulabiriza mu biseera by’omuggalo n’agikoonawo nga ne bweyagezezzaako okugizzaawo era Kigaba yagenze kiro n’agimenyawo. Twatuseewo ng’eri ku ttaka.
Kigambibwa, Kigaba alina edduuka lya Sipeeya okuliraana essundiro ly’amafuta eriyitibwa Don awo mu kabuga k’e Kikyuusa era wano wajja abavubuka bakalibukambwe batwala ne batigomya ebyalo n’okubisuza ku tebuukye.

Edward Bucha ng’ono mupakasi w’omusuubuzi Haji Lumu bw’aba akunyumiza engeri basajja ba Kigaba bwe bamulumba n’amajambiya ekiro, otonnyesa n’amaziga! 
Yatugambye, “Abasajja okwali Julius ne Micheal batabani ba Kigaba bemmanyi obulungi, baatulumba ekiro awo ssaawa nga bbiri. Nnali ne munnange nga tufumba kyaggulo. Tugenda okuwulira ekibinja ky’abasajja abetoloola akayumba kaffe nga n’amajambiya ge bakutte geewagala era tuba tuli awo nga beesozze akayumba mwetwali bonna nga babagalidde embuukuli z’emiggo!”
Batandikirawo okubakuba obubi nga bwebababuuza kyebakola ku ttaka eryo. Okumanya babakuba nnyo, Mzee Bucha yazirika ne basalawo bamuziike mu kinnya ekyali awo era agenda okudda engulu nga badduse dda, baaleka balowooza afudde.

Ye munne bwe baali, yadduka kiwalazima n’asibira ewa ssentebe w’ekyalo ayitibwa Ponsiano Kabale, kyokka nga n’ono abatuuze bamwemulugunyaako nti tabayamba, musajja wa Kigaba!
Baddamu ne babaumba emisanattuku Bucha bweyali ne banne okwali Kizza ne Kawagga ewa Kaweesa era ne babakuba buli nnyo nga bagagamba bakomye okukolera Haji Lumu, kuba ettaka kwe bali omugagga Kigaba alyagala.
Ensonga zino zatwalibwa ku Poliisiy’e Kamira etwala ebimu ku byako bino kyokka eyali agitwala Bamwesigye n’abagamba Kigaba nabo bamutya, beyongereyo mu bakama babwe ab’e Luweero wabula nga nabo bano, Kigaba abayisaamu amaaso.
Difas Joshua, yakwatibwa ku misango gyeyatugambye nti gyali mipangirire, nga Kigaba agamba yatema ente ze. 
“Mu kkomera e Kitalya navuddeyo mu December omwaka oguwedde. Bansooseza mu kkomera e Butuntumula, wuuyo Nakasongola olwo kwekunziza e Kitalya nga mu makomera gano namazeeyo emyezi 15 okutuusa lwe baantadde nga sirina musango.”
Moses Mucunguzi ng’ono faamu maneja wa wa Mukwasibwe Silver yatulaze ennimiro omwali emmere yabwe kyokka emisiri gyonna, ente za Kigaba ne zigirya! 
Agamba yategezaako ssentebe waabwe owa Kakoola LC1 Mw. Ponsiano Kabale naye ebintu ebirimu Kigaba Abitya.   
Ku kyalo kino, RPC was poliisi y’e Luweero yakubako olukiiko okuwulira ebizibu ebiruma abatuuze, n’alambula n’emisiri egyali giriiriddwa ente za Kigaba kyokka naye yadda mu bya ku bagamba kugenda baggulewo omusango ku poliisi ng’akimayi bulungi abatuuze batiisibwatiisibwa ate poliisi gyebaddukira okwekubira enduulu, eggalira baggalire. 
Abatuuze bagamba, batuuka n’okugula ssengenge bataayize ennimiro zabwe kyokka basajja ba Kigaba bamusala ne bayingizaamu ente wakati mu bujoozi n’ettima. 
Abatuuze okuli Mw. Ongwen, Maama Namugga Sylivia n’abalala nabo baatulaze nnimiro omwali emmere yabwe, ente za Kigaba ne zigirya nga kati tebalina na gyebalya.
Muky. Naggawa Cecilia ye ente zamuliiridde emisiri gy’emmere esatu. Ebu Sylivesto Muliro yatufambye yazaalibwa mu ggombolola y’e Kamira ku kyalo Kakoola nti kyokka abadde talabangako nti za mulunzi zonna zirya mmere y’abantu ng’eza Kigaba.Yagambye ziba zirambiddwako EK (Ekitegeeza Erasimus Kigaba). Yatugambye yalima kasooli yiika ssatu ne lumonde kyokka talina kyeyaggyeeyo.
Abatuuze baagala pulezidenti akwate mu Kigaba, ayogere gy’ajja obuyinza okutwalira amateeka mu ngalo, okubawenduliranga ab’ebijambiya babateme, okutwala ettaka ly’abatuuze ku kifuba n’okusumulula ente ze zirye emmere yabwe.

ENGERI KIGABA GY’AYAGALA OKUBBA ETTAKA LYA HAJI LUMU
Endoliito ku ttaka ly’omusubuzi womu Kampala Haji Ibrahim Lumu ne Kigaba zirudde nga ne mu kkooti zatuuka dda ne mu ofiisi ya Pulezidenti.
Ab’obuyinza baalagira dda Kigaba aleete ebiwandiiko ebiraga obwannanyini ku ttaka lya Haji Lumu kw’asalimbira naye tabitwalangayo. 
Haji Lumu yatugambye, efujjo Kigaba ly’akola ku bantu yewaana nga bwetali poliisi eyinza kumukwata,  kkooti nazo zimutya era nti abamutwalayo bamala biseera.

“Twasazeewo tuddukire mu ofiisi ya Pulezidenti kuba ofiisi endala zitusobedde. Ebikolobero Kigaba by’azze akola ku batuuze tagambwako, basajja be batemyetemye abantu, ennyumba zaffe agimenye, ensuku zaffe ente ze ziziridde, ajja ku ttaka lyaffe n’azimbako nga ne bw’otegeeza poliisi terina ky’ekolawo.” Haji Ibrahim Lumu bweyatugambye.

(Mu kitundu kyaffe eky’okubiri ku ggulire lino, tugenda kubaleetera bwino akwata ku ttaka lino eriri ku yiika 221, Kigaba avaawa okutandika okuyiikiriza abatuuze era bannyini lyo abatuufu be b’ani).
Alina ky’oteesa ku nsonga eno, weereza obubaka kuba ssimu y’omukunganya 0772523039

The post OMUSAAYI E LUWEERO! WUUNO OMUGAGGA KIGABA GWE BALUMIRIZA OKUSINDIKA ABEBIJAMBIYA BATEMETEME ABATUUZE KU BYALO BISATU ABABBEKO ETTAKA appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/03/omusaayi-e-luweero-wuuno-omugagga-kigaba-gwe-balumiriza-okusindika-abebijambiya-batemeteme-abatuuze-ku-byalo-bisatu-ababbeko-ettaka/feed/ 0
OZIMBA OTYA ENGUUDO Z’E CONGO NG’EZA WANO ZONNA NFU ZITTA ABANTU BAFFE? https://www.newseditor.co.ug/2022/01/ozimba-otya-enguudo-ze-congo-ngezawano-zonna-zitta-abantu-baffe/ https://www.newseditor.co.ug/2022/01/ozimba-otya-enguudo-ze-congo-ngezawano-zonna-zitta-abantu-baffe/#respond Sun, 23 Jan 2022 04:37:06 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=6365 Ekif: Omubaka Mukasa ng’aganzika ekimuli ku sanduuko y’omutuzeewe Lubyayi eyafiiridde mu kabenje BYA MARY NAKASI, NEWS EDITOR OMUBAKA Aloysius Mukasa olunaku lw’eggulo yakulembeddemu ebikumi n’ebikumi by’abantu ba Lubaga South okugenda e Manyama Kaliisizo mu kuziika abadde mutuuze munnaabwe mu Wilson Zone -Ndeeba, omugenzi Denis Lubyayi eyafiiridde mu kabenje ku Lwokutaano akaavudde ku mpompogoma y’ekinnya ekiri […]

The post OZIMBA OTYA ENGUUDO Z’E CONGO NG’EZA WANO ZONNA NFU ZITTA ABANTU BAFFE? appeared first on News Editor.

]]>
Ekif: Omubaka Mukasa ng’aganzika ekimuli ku sanduuko y’omutuzeewe Lubyayi eyafiiridde mu kabenje

BYA MARY NAKASI, NEWS EDITOR

OMUBAKA Aloysius Mukasa olunaku lw’eggulo yakulembeddemu ebikumi n’ebikumi by’abantu ba Lubaga South okugenda e Manyama Kaliisizo mu kuziika abadde mutuuze munnaabwe mu Wilson Zone -Ndeeba, omugenzi Denis Lubyayi eyafiiridde mu kabenje ku Lwokutaano akaavudde ku mpompogoma y’ekinnya ekiri mu luguudo wakati awo mu Ndeeba okuliraana essundiro ly’amafuta era Shell!
E Kaliisizo Hon. Mukasa gyeyasinzidde n’akambuwalira gavumenti ya NRM okuddira ssente z’omuwi w’omusolo mu Uganda ezizimbemu enguudo ku muliraano mu ggwanga lya Congo n’amamasomero e Tanzania ne yeebuuza wa abakola kino gyebajja ettima ku bannayuganda eryenkanidde awo.
MP Mukasa eyakoze ku by’okuziika omutuuze we ate ng’abadde munnakibiina kya NUP yakunze abeeyo okuwakanya omupango gw’okubaggyako eddembe ly’okwerondera Pulezidenti, aba NRM gwe baliko n’abalagira essaawa bw’eriba etuuse, bamalangayo n’agomubuto okulaba nga teri abaggyako ddembe libaweebwa Ssemateeka okwwrondera abakulembera.
Okuziika kwetabiddwako Alhajj Ali Nganda Mulyanyama meeya w’e Makindye, Lord councilor Faridah Nakabugo n’abakulembeze bangi.
Kitalo nnyo bannaffe!

Olina amawulire agafudde mu kitundu kyo oba ekifaananyi ekikola eggulire? Yogerako n’omukunganya waffe omukulu ku WhatsApp 0772523039

The post OZIMBA OTYA ENGUUDO Z’E CONGO NG’EZA WANO ZONNA NFU ZITTA ABANTU BAFFE? appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/01/ozimba-otya-enguudo-ze-congo-ngezawano-zonna-zitta-abantu-baffe/feed/ 0
KAWEDDEMU: SSABAWAABI WA GAVUMENTI YEDDIZZA OGWA BUJINGO OKUWASA OMUKAZI OW’OKUBIRI, MABIRIZI ASIGADDE MU BBANGA https://www.newseditor.co.ug/2022/01/kaweddemu-omuwaabi-wa-gavumenti-yeddizza-ogwa-bujingo-okuwasa-omukazi-owokubiri-mabirizi-asigadde-mu-bbanga/ https://www.newseditor.co.ug/2022/01/kaweddemu-omuwaabi-wa-gavumenti-yeddizza-ogwa-bujingo-okuwasa-omukazi-owokubiri-mabirizi-asigadde-mu-bbanga/#respond Fri, 14 Jan 2022 13:59:29 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=6324 BYA NEWS EDITOR OLUVANYUMA lwa Ssabawaabi wa Gavumenti okusuuza munnamateeka w’omu Kampala Hassan Male Mabirizi omusango ku buyigirize bwa Pulezidenti wa NUP Robert Ssentamu Kyagulanyi ate oluvannyuma n’eguta, olwaleero yeddizza omusango omulala omuwaabi y’omu gwe yaggudde ku Paasita Aloysius Bujingo owa House of Prayer Ministries ogwekuusa ku by’okumenya ebiragiro by’ekkanisa n’awasa omukyala ow’okubiri.Abatunuulizi b’ensonga bagambye, […]

The post KAWEDDEMU: SSABAWAABI WA GAVUMENTI YEDDIZZA OGWA BUJINGO OKUWASA OMUKAZI OW’OKUBIRI, MABIRIZI ASIGADDE MU BBANGA appeared first on News Editor.

]]>
BYA NEWS EDITOR

OLUVANYUMA lwa Ssabawaabi wa Gavumenti okusuuza munnamateeka w’omu Kampala Hassan Male Mabirizi omusango ku buyigirize bwa Pulezidenti wa NUP Robert Ssentamu Kyagulanyi ate oluvannyuma n’eguta, olwaleero yeddizza omusango omulala omuwaabi y’omu gwe yaggudde ku Paasita Aloysius Bujingo owa House of Prayer Ministries ogwekuusa ku by’okumenya ebiragiro by’ekkanisa n’awasa omukyala ow’okubiri.
Abatunuulizi b’ensonga bagambye, na guno gufudde, Mabirizi alabika akomye ku munaabo.
Munnamateeka Moses Kabuusu agambye kino si kipya naddala eri abo Gavumenti b’eba teyagala bavunaanwe olwokwewala ebiyinza okuddirira.
Mu bbaluwa eyafulumye ku Lwokusatu nga eriko omukono gwa Janet Kitimbo ono nga ye Resident Chief State Attorney atwala Ntebe ku lwa Ssabawaabi (DPP), egambye nti Ssabawaabi wa Gavumenti ategeeza omulamuzi omukulu owa kkooti entebe ng’omusango No. 666 n’okusaba okwateekebwa mu kkooti y’omu No. 22/2021 mu musango oguvunaanwa Paasita Bujingo ne muninkiniwe Susan Makula Nantaba, omuwaabi wa Gavumenti omukulu bw’agweddizza.
“Nga tusinziira mu Ssemateeka ya 1995 akawaayiro 120 (3) (c) n’akalala aka 42 (1) (a) ne (c) mu tteeka erifuga kkooti Cap 16, tukutegeeza nti Omuwaabi wa Gavumenti omukulu yeddizza omusango guno.”
Ebbaluwa ya Kitimbo, bw’esoma.
Asabye omuwaabi Male Mabirizi okutwala ew’omuwaabi wa Gavumenti e Ntebe ebiwandiiko byonna kw’abadde yeesigamye okuwaabira Bujingo ne Makula ssaako amawulire aganayamba Gavumenti mu kuwaabira Bujingo.
Kopi y’ebbaluwa eno eweereddwako Mabirizi ne munne Rutaro Robert bwe baali bawaabwa.
Kino kitegeeza, eby’omusango guno Male Mabirizi abinnyuse bubimbi. Bino webiggyidde ng’ekitongole ekifuga ebiweerezebwa ku mpewo kiwadde Male Mabirizi obutambi okuli amaloboozi ku bya Bujingo okuwasa Makula nga kabwejungira yabyogerera ku leediyo ye eya 107 Salt fm. Kati bino byonna musajja wattu Mabirizi birabika byamumenyedde bwereere.

The post KAWEDDEMU: SSABAWAABI WA GAVUMENTI YEDDIZZA OGWA BUJINGO OKUWASA OMUKAZI OW’OKUBIRI, MABIRIZI ASIGADDE MU BBANGA appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/01/kaweddemu-omuwaabi-wa-gavumenti-yeddizza-ogwa-bujingo-okuwasa-omukazi-owokubiri-mabirizi-asigadde-mu-bbanga/feed/ 0
ENGERI MINISITA MINSA KABANDA GY’AGONJODDE ENKAAYANA Z’OBUKULEMBEZE BWA BADEREEVA BA TAXI MU PAAKA EMPYA N’ENKADDE https://www.newseditor.co.ug/2022/01/engeri-minisita-minsa-kabanda-gyagonjodde-enkaayana-zobukulembeze-bwa-badereeva-ba-taxi-mu-paaka-empya-nenkadde/ https://www.newseditor.co.ug/2022/01/engeri-minisita-minsa-kabanda-gyagonjodde-enkaayana-zobukulembeze-bwa-badereeva-ba-taxi-mu-paaka-empya-nenkadde/#respond Tue, 11 Jan 2022 04:07:50 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=6280 ● Zibadde zitutte emyaka ebiri nga baddereeva balwanagana● Buubuno obukulembeze obupya obutongozeddwa● Ziizino siteegi 35 ezikkiriziddwa mu paaka enkadde BYA MOSES MUGALULANEWS EDITOR MEDIA OLANAKU lw’eggulo, minisita Hajjati Minsa Kabanda avunanyizibwa ku Kampala n’emiriraano yazzeeyo mu ppaaka enkadde gye yakubye olukungaana lw’abakulembera enzirukanya ya Taxi.Ku Lwomukaaga, minisita Kabanda lweyagguddewo paaka enkadde mu butongole ng’eno bukya […]

The post ENGERI MINISITA MINSA KABANDA GY’AGONJODDE ENKAAYANA Z’OBUKULEMBEZE BWA BADEREEVA BA TAXI MU PAAKA EMPYA N’ENKADDE appeared first on News Editor.

]]>
● Zibadde zitutte emyaka ebiri nga baddereeva balwanagana
● Buubuno obukulembeze obupya obutongozeddwa
● Ziizino siteegi 35 ezikkiriziddwa mu paaka enkadde

BYA MOSES MUGALULA
NEWS EDITOR MEDIA

OLANAKU lw’eggulo, minisita Hajjati Minsa Kabanda avunanyizibwa ku Kampala n’emiriraano yazzeeyo mu ppaaka enkadde gye yakubye olukungaana lw’abakulembera enzirukanya ya Taxi.
Ku Lwomukaaga, minisita Kabanda lweyagguddewo paaka enkadde mu butongole ng’eno bukya eddaabirizibwa KCCA ebaddemu enkaayana z’amanyi ng’abagagga bannyini puloti mu paaka enkadde bagamba baagala kuzikulaakulanya, paaka eveewo. Okutuusa pulezidenti Museveni lqeyabiyingiddemu.
Bweyazzeeyo olunaku lw’eggulo, minisita yalagidde Mw. Rashid Ssekindi omukulembeze w’ekibiina kya UTOF ekiddukanya Taxi zonna, asseewo obukulembeze mu ppaaka enkadde n’empya, kuba gavumenti ekooye enkayana ezitaggwa.
Ekiragiro kya minisita, bunnambiro kyassiddwa mu nkola, Rashid Ssekindi ng’ali n’omumyuukawe Mustafa Mayambala bagenze mu ppaaka empya ne basalawo eggoye ku ani anakulembera ba dereeva.
Haji Badiru Sserunjogi kyaddaaki yalangiriddwa ku bwassentebe bwa ppaaka empya ate ye Noordin Mukuye bwe baludde nga bagugulana, n’aweebwa eky’obumyuuka wadde yalabise ng’atamatidde na nsalawo eno. 
Bino byonna bakira bigenda mu maaso nga Eng. Luyimbaazi, amyuuka nankulu wa Kampala waali abyota muliro. 
Ono yeyaleese n’ebisumuluzo bya ofiisi ya badereeva eyali yaggalwa, n’abikwasa Ssekindi naye oluvannyuma eyagiguddewo wakati mu mizira egyasaanikidde ppaaka empya yonna.
Ssekindi bakira ayogera nga Mayambala bw’akkaatiriza, yagambye, “Ntumiddwa minisita wa Kampala Hajjati Minsa Kabanda okubategeeza nti Haji Badiru ye Ssentebe wa paaka empya era agenda kumyuukibwa Noordin Mukuye. Era nze ng’omukulembeze owokuntikko, nzize kuggulawo ofiisi eyali yaggalwawo okumala emyaka ebiri.”
Mukuye kaabuze katya bakanyama bamulyewo akasukibwe ebweru wa paaka olw’okugezaako okujeemera ekiragiro kya minisita ng’agamba y’alina okubeera Ssentebe.
Ssekindi yamulabudde nti singa anagenda mu maaso n’okukola amampaati yabadde wakugobwa mu paaka kuba tebakyayagala mivuyo.
Yagambye, “Oba nze ne Mustafa Mayambala bwetuludde nga tulwana twegasse olw’obulugi bw’omulimu gwaffe era kati tuli kimu, mmwe kiki ekibagaana okukolagana?”
Yo mu paaka enkadde, Karim Mulindwa ye ssentebe ng’amyuukibwa Peter Kirabira. Bano bo bakolagana era emirimu gikwajja.

SITEEGI Y’ENTEBE EGOBEDDWA 
MU PAAKA ENKADDE

Ku biragiro minisita Kabanda byeyawadde, mmotoka ezidda e Ntebe zaagobeddwa mu paaka enkadde. Yalagidde zidde ziddeyo mu paaka ya Usafi.
Minisita agaanyi ekya mmotoka ezidda awamu okubeera ne si siteegi mu paaka ez’enjawulo. Okugeza, ez’Entebe zirina kubeera mu paaka ya Usafi.
Zo ez’e Luweero, aziragidde zibeere mu paaka y’e Namayiba.

ZIIZINO SITEEGI 35 EZIKKIRIZIDDWA MU PPAAKA ENKADDE
Siteegi zino ezaasomeddwa mu lukiiko lwa minisita Kabanda zeezino;
1.Bugerere coaster 2. Bugerere Kigege 3.Busia 4. Buziga 5. Bweyogerere ‘B’ 6.Bwaise 7. Gayaza Busiika Nakasajja 8.Ggaba 9. Jinja ‘A’ 10. Jinja ‘B’ 11.Kawempe -Ttuula 12. Kamwokya 13. Kansanga 14. Katosi 15. Kawempe Maganjo 16.Kawolo Lugazi 17. Kibuli 18. Lira 19. Luzira ‘A’ 20.Luzira ‘B’ 21. Makerere 22. Mbale Tororo Malaba Palisa 23. Mbuya Kinawataka 24. Mengo Rubaga 25. Mpererwe Kalerwe 26. Mukono ‘A’ 27. Mukono ‘B’ 28. Mulago Kitala TASO 29. Muyenga 30. Naguru Jokas Bweyogerere 31. Namuwongo 32. Nsambya 33. Ntinda Nakawa 34. Nagongera Busoolwe.

ENSASULA Y’OMUSOLO GWA KCCA
Buli Taxi ekolera mu Kampala yakusasula emitwalo 72 buli mwaka ate ezifuluma Kampala okugenda mu disitulikiti endala, zo zakusasula emitwalo 84.
Ssente zino osobola okuzisasula mu bitundutundu.
Omukungu wa KCCA yagambye baddereeva nti okuwandiisa taxi yo,  oteekeddwa okugenda n’ebbaluwa y’obubukembeze bwa siteegi kw’okolera.

Alina ky’oteesa ku ggulire lino, tukubireko ku 0701523039 

The post ENGERI MINISITA MINSA KABANDA GY’AGONJODDE ENKAAYANA Z’OBUKULEMBEZE BWA BADEREEVA BA TAXI MU PAAKA EMPYA N’ENKADDE appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/01/engeri-minisita-minsa-kabanda-gyagonjodde-enkaayana-zobukulembeze-bwa-badereeva-ba-taxi-mu-paaka-empya-nenkadde/feed/ 0
KKOOTI EWADDE EKIRAGIRO EKIKAMBWE KU MUVUBUKA EYAKWATIBWA KU BY’OKUJEREGA MUTABANI WA PULEZIDENTI https://www.newseditor.co.ug/2022/01/kkooti-ewadde-ekiragiro-ekikambwe-ku-muvubuka-eyakwatibwa-ku-byokujerega-mutabani-wa-pulezidenti/ https://www.newseditor.co.ug/2022/01/kkooti-ewadde-ekiragiro-ekikambwe-ku-muvubuka-eyakwatibwa-ku-byokujerega-mutabani-wa-pulezidenti/#respond Mon, 10 Jan 2022 17:11:10 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=6273 BYA MUSASI WAFFE KKOOTI enkulu mu Kampala eyisizza ekiragiro eri abawawaabirwa bana okuli Brig. Gen. Peter Candia aduumira eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC, Grace Akullo (Akulira ekitongole kya bambega ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango wali e Kibuli), Ssabaduumizi wa Poliisi Martin Okoth Ochola ne Ssaabawolereza wa Uganda.Omulamuzi mutaseka Musa Ssekaana bano abalagidde okuleeta mu Kkooti omuwandiisi […]

The post KKOOTI EWADDE EKIRAGIRO EKIKAMBWE KU MUVUBUKA EYAKWATIBWA KU BY’OKUJEREGA MUTABANI WA PULEZIDENTI appeared first on News Editor.

]]>
BYA MUSASI WAFFE

KKOOTI enkulu mu Kampala eyisizza ekiragiro eri abawawaabirwa bana okuli Brig. Gen. Peter Candia aduumira eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC, Grace Akullo (Akulira ekitongole kya bambega ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango wali e Kibuli), Ssabaduumizi wa Poliisi Martin Okoth Ochola ne Ssaabawolereza wa Uganda.
Omulamuzi mutaseka Musa Ssekaana bano abalagidde okuleeta mu Kkooti omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija ng’Olwokusatu nga 12/January/2022 terunnaziba.

Bannamateeka ba Kakwenza okuli Kiiza Eron, Luyimbaazi Nalukoola ne Ronald Samuel Wanda be baddukidde mu kkooti nga baagala eragire, omuntu waabwe aleetebwe oba mulamu, oba mufu! Kino kkooti enkulu ekkiriziganyizza nakyo.
Bo abawawaabirwa abana bakiikiriddwa bannamateeka babiri okuli; Kahwa Christine ne Adrole Richard.
Eby’okukwatibwa kwa Kakwenza byekuusa ku byazze awandiika ku Gen. Muhoozi Kainerugaba, mutabani Pulezidenti wa Pulezidenti Museveni.
Bano banaamuleeta mu kkooti oba bsnagiyisaamu olugaayu? Ggwe olowooza otya?

Oteesaaki ku ggulire lino? Yogerako naffe ku WhatsApp 0772523039

The post KKOOTI EWADDE EKIRAGIRO EKIKAMBWE KU MUVUBUKA EYAKWATIBWA KU BY’OKUJEREGA MUTABANI WA PULEZIDENTI appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2022/01/kkooti-ewadde-ekiragiro-ekikambwe-ku-muvubuka-eyakwatibwa-ku-byokujerega-mutabani-wa-pulezidenti/feed/ 0
Minisita Kyewalabye Male atwala Ebyobuwangwa, Embiri n’Ennono ayogedde lwaki bataddewo akakiiko ku biraamo by’Abataka abakulu b’ebika https://www.newseditor.co.ug/2021/04/minisita-kyewalabye-male-atwala-ebyobuwangwa-embiri-nennono-ayogedde-lwaki-bataddewo-akakiiko-ku-biraamo-byabataka-abakulu-bebika/ https://www.newseditor.co.ug/2021/04/minisita-kyewalabye-male-atwala-ebyobuwangwa-embiri-nennono-ayogedde-lwaki-bataddewo-akakiiko-ku-biraamo-byabataka-abakulu-bebika/#respond Fri, 30 Apr 2021 16:23:08 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=4046 Owek. Kyewalabye Male lwe yakyalira embuga ya Namuyonjo e Bugerere Bya Meddie Kityo NGA 22/02/2019, Ssaabasajja yasiima n’alonda Owek. David Kyewalabye Male ku bwaminisita avunaanyizibwa ku by’Obuwangwa, Ennono n’Embiri mu nkyukakyuka Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mwe yakendereza omuwendo gwa baminisita be okuva ku 25 ne bafuuka 14. Owek. Kyewalabye avunaanyizibwa ku biri mu Lubiri […]

The post Minisita Kyewalabye Male atwala Ebyobuwangwa, Embiri n’Ennono ayogedde lwaki bataddewo akakiiko ku biraamo by’Abataka abakulu b’ebika appeared first on News Editor.

]]>
Owek. Kyewalabye Male lwe yakyalira embuga ya Namuyonjo e Bugerere

Bya Meddie Kityo

NGA 22/02/2019, Ssaabasajja yasiima n’alonda Owek. David Kyewalabye Male ku bwaminisita avunaanyizibwa ku by’Obuwangwa, Ennono n’Embiri mu nkyukakyuka Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II mwe yakendereza omuwendo gwa baminisita be okuva ku 25 ne bafuuka 14. Owek. Kyewalabye avunaanyizibwa ku biri mu Lubiri ayogedde naffe ku nsonga eziwerako.
Munyiivu eri abo abapeeka Katikkiro Charles Peter Mayiga okubabuulira ku bulwadde bwa Kabaka, agambye butamanya nnono ya Buganda kye kibatawanya.
Mu mboozi eyaakafubo n’omusasi waffe, Owek. Kyewalabye agambye abo abeefuula nti baagala Kabaka ne batuuka n’okugenda ku mitimbagano gye bawandira omuliro ku nsonga ze batamanyiiko, ne balumba Katikkiro n’abakungu ba Kabaka abalala, bakikola lwa butamanya bya buwangwa, nnono na bulombolombo bwa Buganda.
Yagambye nti, “Mu nnono za Buganda, Kabaka talwala, Kabaka addugala buddugazi. Teri Muganda amanyi nnono ayinza kugamba nti Kabaka mulwadde. Kubanga mu bulamu bw’abantu be, talina kuba nti mugonvu. Abaganda batwala Kabaka okuba nga Katonda waabwe ow’oku nsi. Mu nnono, Abaganda bakkiriza nti Katonda waabwe ow’oku nsi, nannyini nsi Buganda, obulwadde obukwata abantu ye tebumukwata. Katonda waabwe talwala. Ekyo ky’ekitiibwa kya Kabaka mu nnono zaffe.”
Yiino emboozi mu bujjuvu;

Ekibuuzo: Ggwe nga Minisita avunaanyizibwa ku Buwangwa, Ennono n’Embiri, tolaba nsonga yonna ya ssimba mu babuuza Katikkiro ku by’obulamu bwa Kabaka?
Owek. Kyewalabye: Mu nnono zaffe, Kabaka talwala. Ye Katonda w’ensi Buganda. Eyo y’enzikiriza yaffe. Abo abatambuza bye batamanyi ku mitimbagano, tebamanyi nnono. Ffenna kye twebuuza, ebiruubirirwa byabwe bye biriwa? Kubanga bw’oba ogamba oli Muganda ossa ekitiibwa mu Kabaka naye nga tosobola kuba muwulize eri Kabaka n’abakulembeze mu Bwakabaka, kwe kugamba kitegeeza ennono ya Buganda togimanyi.

Ekibuuzo: Okubuuza ku bulamu bwa Kabaka kitegeeza butamanya nnono?
Owek. Kyewalabye: Mu nnono ya Buganda Kabaka tabeerako kintu kibi. Ebigambo byonna ebimukozesebwako, tebibeera bya lulimi lwa bulijjo ne bw’abeera ali mu ssanyu oba mu nnaku. Ebigambo ebikozesebwa ku Kabaka, si bye bakozesa ku muntu waabulijjo nga nze Kyewalabye. Okugeza; Kabaka teyeebaka, awummulamu buwummuzi. Kubanga okwebaka kufaananyiriza kufa. So tewali kiseera w’oyinza kugambira nti Kabaka tatufuga. Kubanga bw’ogamba nti yeebase oba ng’ategeeza nti mu kiseera ekyo, si y’ali mu mitambo gy’Obwakabaka bwe. Mu nnono za Buganda, Kabaka aba teyeebase wabula abeera awummuddeko buwummuzi ekitegeeza nti akyali mu mitambo gya Bwakabaka bwe.
Toyinza kugamba nti Kabaka alya emmere, Kabaka abeera mu bibbo. Ggwe omukopi ggwe olya. Kabaka tabeera na Kisaakaate, abeera na Lubiri. Ggwe ne bw’ozimba obwaguuga bw’enju, toyinza kugiyita Lubiri. Olubiri lubeeramu Kabaka yekka. Ekyo kiba Kisaakaate.

Ekibuuzo: Abagamba nti Nnamasole alina Olubiri bakikola mu bukyamu?
Owek. Kyewalabye: Nedda. Naye abeera n’Olubiri. Mu Buganda, Nnamasole yekka y’alina obuyinza kumpi obuvuganya n’Obwakabaka. Ye maama wa Kabaka. Era Kabaka bw’agaana okukusonyiwa omusango, n’ojulira ewa Nnamasole n’agamba nti nkusonyiye, ogwo omusango guba guwedde. Nnamasole ye yekka akkirizibwa mu Buganda okuba n’endowooza endala ku ya Kabaka, tewali mulala. Kubanga kikkirizibwa nti omuzadde maama abeera wa kitiibwa.

Ekibuuzo: Nnamasole naye wa kitiibwa?
Owek. Kyewalabye: Ye. Edda, Buganda yabeeranga n’abeebitiibwa bana bokka: Owek. Katikkiro, Owek. Omulamuzi, Owek. Omuwanika n’Owek. Nnamasole. Abasigadde bonna babeera nga bakungu. Ebitiibwa ebyo bigaziyiziddwa ku mulembe gwa Kabaka Mutebi. N’alagira nti buli akika mu Lukiiko, abeera wa kitiibwa.

Ekibuuzo: Ogambye abantu abatamanyi nnono be bali mu kutyoboola Kabaka, Katikkiro, Obwakabaka n’ennono y’Abaganda. Minisitule yo ekozeewo ki okubangula abantu nga bano abasinziira ku mikutu Mukwanirawala bamanye obukulu bw’ennono n’empisa zaffe mu Buganda, beewale okumala googera ku bye batamanyi?
Owek. Kyewalabye; Ekisooka, ffe ng’Obwakabaka tukola buli kisoboka okuyimirizaawo empagi essatu eziyimirirako Obwakabaka. Mu mpagi zino mwe muli; Abataka, Abalangira n’Abambejja, ssaako n’empagi y’Abaami. Ago oyinza okugayita amasiga asatu agatuulako Obwakabaka. Amasiga gano asatu gaddamu okunywezebwa wano jjuuzi mu 1993 Obwakabaka lwe bwazzibwawo oluvannyuma lw’okusaasaanyizibwa mu 1966. Kyokka ate ne mu 1966 amasiga gano asatu gaagenda okusaasaanyizibwa obukulembeze bwa Kawenkene Obote, ng’abafuzi b’Amatwale baatandika dda okuganafuya. Mu 1966, yali ntikko ey’ekyo ekyatandikibwa omufuzi w’Amatwale.

Ekibuuzo: Tubadde tulowooza okutabanguka kw’Obwakabaka kwatandikira ku Dr. Milton Obote mu 1966, amagye ge lwe gaalumba Olubiri, Ssekabaka Muteesa II n’awang’anguka, ekyaddirira kukisa mukono?
Owek. Kyewalabye: Bw’osoma mu byafaayo byaffe, mu bufuzi bw’Amatwale kumpi tewaali Kabaka yafuga mu mirembe okuviira ddala ku Ssekabaka Daudi Chwa. Ono ate yabonyaabonyezebwa nnyo Abazungu olwo nga batandise okwagala okukutula mu ggwanga lye. Nga bagamba obuyinza buli Ntebe obw’Omuzungu ne mu Palamenti yaabwe. Abazungu bennyini mu ndagaano ya 1900 baddira obuyinza bwa Kabaka ne babwawuzaako ne bamugabanyiza ku nsi ye gye yalinako obuyinza. Ne bamutemeratemerako ky’alina okufuna nga kino baakikolera mu Lukiiko mwe yali atudde n’abaami be abakulu okwali; Sir. Apollo Kaggwa, Stanislas Mugwanya ne Zacharia Kisingiri. Era ne bw’olaba omugabo gw’abaami ba Kabaka abaali mu ndagaano y’Olwenda nga batemaatema ebyo, omugabo ogwabwe gwasukkuluma. Kubanga baafuna ng’abantu ne bafuna ate nga woofiisi.

Ekibuuzo: Ebintu byasoba kuva mu ndagaano ya 1900?
Owek. Kyewalabye: Okuva mu 1900, twalina Kabaka nga muto nga ye Daudi Chwa. Sir. Apollo Kaggwa eyali Katikkiro, yafugako Buganda nga Kabaka newankubadde yali Katikkiro. Noolwekyo, okuva awo wonna, Buganda ezze eyuuga. Bino bye mulaba nga waliwo abatyoboola Nnamulondo, kyazimbibwa bafuzi b’Amatwale. Nga bateesa ku nsonga z’Obwakabaka nga tebasoose kufuna lukusa kuva wa Kabaka. Nga bakola ebintu n’abaali abakuza. Abazungu baatawaanya nnyo Daudi Chwa. Y’alinga ataalina buyinza ng’aguluba n’Abazungu. Yatuukanga n’okuva mu Lubiri n’abeerako ewa maama we e Salaama. Ky’ova olaba, Daudi Chwa yalina Olubiri e Salaama. Teyafuna nnyo mirembe.

Ekibuuzo: Ne ku Muteesa II?
Owek. Kyewalabye: Ye. Kyokka ono yawakanya nnyo Abazungu. Mu bumpimpi, okuva mu 1900 okutuuka kumpi ku mulembe Omutebi, Buganda teyafugibwako Kabaka ng’atandika nga mukulu. Noolwekyo kitegeeza, mu kiseera ekyo, obuyinza Kabaka bwe yandibadde nabwo mu bujjuvu, bwali wakati we n’abali abamuddukanyizaako gavumenti. So Obwakabaka ogwo gwe muyaga bwe guzze guyitamu era mu 1966, Obote kwe kujja n’abukuba ekigwo ekisembayo. Byatandikira mu kibalo ky’Abazungu nga ne Kabaka asobola okuvuganya mu by’obufuzi bya Uganda nga naye alina okukola ekibiina avuganye. So, Obote yakozesa magezi g’Abazungu okusaanyaawo Obwakabaka. Eky’alinga nti Kabaka ky’ayagala, Abaganda be bamulwanirira, ne kikyusibwa nga ky’ayagala asooka kukirwairira. Obuyinza obumu ne budda mu mikono gy’Abaganda. Ky’ova olaba waliwo Abaganda na buli kati abalowooza nti bo be balina eddoboozi eri Kabaka. Era ky’ova olaba na buli kati, baagala balage nti eno embeera be bagimusalirawo. So nga mu nnono za Buganda, Kabaka ye y’entandikwa era y’enkomerero. Kabaka takola nsobi, abaami be be bakola ensobi. Ye tasobya. Era olw’okuba tasobya, Kabaka teyeetonda. Tayinza kuvaayo n’agamba nti bannaffe tubeetondedde nnyo.

Ekibuuzo: Ebyafaayo bino bye bivuddeko abasiiwuufu b’empisa ku mitimbagano abayisa olugaayu mu Nnamulondo?
Owek. Kyewalabye: Ebyafaayo bino bye bigenze bisaanyaawo ennono zaffe. N’owulira okwegugunga kw’Abataka, Abataka bbu n’emirala. Gino gyali mipango gy’Abazungu.

Ekibuuzo: Obwakabaka buvuddewo mu 1966?
Owek. Kyewalabye: Abantu bangi baalowooza nti Obwakabaka tebuliddawo. N’ebintu bingi ebyali eby’Obwakabaka baabigana. Abaami abaalina obuvunaanyizibwa bwonna ebintu byafuuka bya baana baabwe. Y’ensonga lwaki ebitaawuluzi byonna byatundibwa, ettaka ly’Amagombolola lyazimbibwako, ebiggwa eby’ennono ne bisengwako nga baalowooza Obwakabaka buweddewo.
Kati Obwakabaka bugenze okuddawo, ng’ebyokukolako bingi. Nga kati olina okuzzaawo Obwakabaka naye ate n’okusomesa abavubuka bakitegeere ekintu kye bazzeemu. Nti Kabaka buno bwe buvunaanyizibwa bwe era ennono egamba bweti ne bweti.

Ekibuuzo: Bano abavuma Katikkiro n’okuyisa olugaayu mu Nnamulondo tebalina bika mwe bava? Lwaki tebibagunjula kuba Obwakabaka bwaddawo n’ebika weebiri?
Owek. Kyewalabye: Abafuzi b’Amatwale ne Obote okulumba Olubiri mu 1966 kyanafuya nnyo Obwakabaka ne kitwaliramu n’ebika. Ky’ova olaba ebika ebiwerako, bibadde mu kkooti ya Kisekwa nga biwoza misango egyekuusa ku by’obusika. Kubanga mu biseera ebyo ebika byalimu obunkenke bw’amaanyi nnyo n’abamu ku bakulu b’ebika babinnyika mu nsuwa. Noolwekyo, ebintu byaffe olw’okuba biri mu nnono, bye tukola byonna biri mu nnono nga twetaaga obudde bungi okubisomesa abantu. Kuba kati ebika ebimu tuzza bizze.

Ekibuuzo: Zo kkooti z’ebika zikyaliwo?
Owek. Kyewalabye: Luli twabanga ne kkooti okuviira ddala ku luggya ppaka ku Kasolya. Kabaka yandagira ne mbawandiikira bazizzeewo. Ng’ekigenderwa, enkaayana eziri mu kika zimalibwewo mu mitendera egy’ebika. Kati era kye tugezaako okuzimba mu bajjajjaffe Abataka abakulu b’ebika okukakasa nti kkooti z’ebika ziddawo. Nga bwe wabeerawo obutakkaanya mu bazzukulu, busobola okukolebwako mu bika ne buggwaawo.

Ekibuuzo: Owek. Ebika ebimu ng’ekyengeye, Enkima n’Enseenene, birina abakulembeze babiri babiri. Lwaki ensonga y’obukulembeze mu bika ebalemedde ddala okugonjoola?
Owek. Kyewalabye: Egonjoddwa naye abamu ba mputtu. Kabaka asaze emisango mingi. Ogw’Ekkobe yagusala, n’asala Ogw’Engeye, n’emirala mingi.

Ekibuuzo: Naye waliwo abaatamatira n’ensala eyo naddala Abengeye era baddukira mu kkooti enzungu.
Owek. Kyewalabye: Buli lw’okola ekyo, obeera ovudde mu nnono. Kabaka mu buyinza bwe, ateekawo ekika ekipya oba okuggyawo ekyo ekiriwo. Abennyonyi, yali emu oba bbiri, Ssekabaka Muteesa ye yazisaasaanya, n’azifuula ez’omuwendo. Kuliko omu eyamutabangula, eyali omukulu w’ekika nga tamuwulira. N’akiggyawo. Ky’ova olaba ng’Ennyonyi kati nnyingi. Kabaka Mutebi y’akutudde mu Mmamba n’azifuula ssatu. N’Emitima y’agikutuddemu ne gifuuka ebiri. Obwo bwe buyinza bwa Kabaka. Kubanga mu ndagaano y’Ennono, Kabaka gye yakola n’Abataka, obuyinza obwo baabuwa Kabaka Ssaabataka nti mu bonna y’abalamula. Noolwekyo, obuyinza obutondawo essiga bwa Kika, kyokka Kabaka y’alina obuyinza obukakasa essiga eryo. Okuva ku ssiga okutuuka ku mukulu w’akasolya, Kabaka nga Ssaabataka, y’abakakasa. Y’ensonga lwaki buli lwe wabaawo omukulu w’ekika omupya, bamutwala ne bamwanjulira Ssaabataka.

Ekibuuzo: Naye enkaayana mu bika zisusse?
Owek. Kyewalabye: Nedda ebika byabangamu enkaayana. Ennaku zino ekiriwo, emikutu gy’amawulire mingi buli kimu gikifulumya mangu. Naye Kabaka azze asalawo eggoye mu bika eby’enjawulo. Okugeza, Abenseenene, yagamba Kalibbala y’akulira ekika ky’Enseenene, n’alagira Mugalula bamuwe essiga. Ggwe okyalaba ng’Abenseenene bakaayana?

Ekibuuzo: Mu kika ky’Engeye, waliwo abagamba nti Charles Mayanja Kyesimba ye yadda mu bigere bya kitaawe eyali Kasujja. Ate b’ani abaalaga Hajji Minge (kati omugenzi) ewa Kabaka nti ye Kasujja?
Owek. Kyewalabye: Baali baalya ensowole. Wakati awo baali baawamba. Y’ensonga lwaki Kabaka yazzaayo Obwakasujja oluvannyuma lw’enjuyi zombiriri okuwoza. Era eno y’ensonga lwaki Minge baamutereka Busujja ku butaka bw’Abengeye.

Ekibuuzo: Naye ate ettaka ly’e Busujja ekyapa kiri mu mannya ga Charles Mayanja Kyesimba.
Owek. Kyewalabye: Ekyo kituufu era tugezaako okukitereeza n’Abengeye. Nteekateeka okugendayo essaawa yonna. Obwakabaka bwe bwavaawo, abaali baddukanya ebintu by’Obwakabaka abamu baabiwamba. Olaba ekyabadde ku ttaka ly’e Kyambogo. Oba basobola okubba Kabaka wano w’asula ate olwo e Busujja? Oli n’akyusa yiika ezisukka mu 600 n’aziwa omuntu omulala. Ettaka ly’ebika lyonna lyabeerangako Nnamwama. Ettaka erimu, baaliwandiisa nga liriko amannya g’abakulu b’ebika naye nga basosaako ekitiibwa kyabwe okugeza ‘Kasujja’ ekitegeeza ettaka lya kika. Naye kati baatuusa ekiseera nga baliwandiisa ng’eryabwe. Nnankere ow’Emmamba Kakoboza, kitaawe ettaka yalisingira Omuzungu era ne balitunda. Kyokka ate n’aliraamira omwana! Embeera ey’obutabeera na bwesimbu si ya nnaku zino. Kubanga oli bw’afa n’alaamira omwana we, omwana we ayinza obutakola bulungi. Abaana abatunda ettaka, ne mu bakulu b’ebika mwe bali.

Ekibuuzo: Obutaka bw’ebika, liba ttaka nga lya mukulu wa kika oba lya muntu buntu?
Owek. Kyewalabye: Buba butaka bwa kika. Ennaku zino nasaba Abataka nti buli mukulu w’ekika, ateekewo akakiiko akalaba ku kiraamo kye. Balabe biki by’ateeseemu. Ne mu bika, basseewo obukulembeze obulaba ku biki omukulu w’ekika by’alamye. Kubanga ebimu ku bitabangudde ebika, by’ebiraamo by’abakulu b’ebika. Mu byafaayo byaffe, buli butaka bw’ekika we buli, ekika ekyo we kisibuka.

Ekibuuzo: Ettaka ly’ebika lyaweebwayo Bwakabaka?
Owek. Kyewalabye: Erimu lyaweebwawo Bakabaka ab’enjawulo, naye erimu baalifuna mu butaka bwabwe. Abempologoma e Lwadda, Abengo baali batambula ne bayita mu Busujju omwo, ne basibira e Butambala, Ab’ennyonyi Endiisa ne basibira e Buddu era ne bagamba nti tusiisidde wano. Kati buli kika we kyasangibwa, awo waafuuka ewaakyo. Kati noolwekyo Obwakabaka bwe bwanywera Abazungu nga bamaze okujja, ne babanywereza buli kika we kyali. Naye nga ekiri mu ekyo, olwokuba ffenna tusibuka mu musaayi gumu, obwo bwe butaka bwaffe. Omukulu w’ekika bw’owummula ng’omulala agenda mu maaso. Kwe kugamba, tewaalibaddewo buzibu singa eby’okutunda tebyajjamu. Nti ne bwe wandibadde katugeze ng’otunze, wandibadde otunze mu kika kyo. Nazzikuno, ng’osanga obutaka bw’ekika buliko bantu ba kika ekyo so si balala. Noolwekyo abakulu b’ebika, mu biraamo byabwe balina okubeera abeesimbu.

Ekibuuzo: Ne ku Kabaka wabeerawo ettaka erirye ng’omuntu n’eryobwakabaka?
Owek. Kyewalabye: Sir Daudi Chwa bwe yali tannakisa mukono, yakola ekiraamo kye. N’ayawula ettaka lya Daudi Chwa ng’omuntu n’erya Daudi Chwa nga Kabaka. Era yagamba nti lino ettaka ndyawudde lyange ng’omuntu, si ku lwa nga mu dda walibaawo alirigatta ku ly’Obwakabaka.
Weewaawo yawandiika Ssikweya mayiro 100, naye ziri 166.
Chwa yali mukulembeze mwesimbu era bye biraamo bye tuzze tugoberera. Ne Ssekabaka Muteesa naye yayawulamu ettaka era erirye n’aligabira abaana be. Ettaka ly’Obwakabaka teyaligaba era teyalikwatako.

Ekibuuzo: Ogambye akakiiko ku biraamo by’abakulu b’ekika kateereddwawo?
Owek. Kyewalabye: Nasabye abataka beekolemu omulimu, akakiiko ako akatunula mu kiraamo newankubadde kya kyama, twagala okumanya ennambika y’ebintu mu biraamo. Omukulu w’ekika ky’alamye, ky’ekiwa amaanyi amuddidde mu bigere.

Ekibuuzo: Naye kiki ekireese enkaayana mu bika?
Owek. Kyewalabye: Enkaayana ezisinga mu bika za byabugagga. Era bwe wabaawo aliko olutalo lw’awangudde, mu myezi esatu mumusanga aliko ky’atunze.Ate mulimu n’ababateekamu ssente basobole okuwangula.

Ekibuuzo: Nawulirako Oweekitiibwa ekirowoozo ky’okuteekawo ba ‘Trustees’ ng’omukulembeze w’ekika talina ky’ayinza kukola nga bammemba ba ‘Trustees’ tebakkiriza.
Owek. Kyewalabye: Ekyo Ssaabasajja Kabaka yakiragira dda. Okuggyako twasabye bongeremu akawaayiro nti buli kika ekiwandiisa ba ‘Trustees’ ku ttaka, ne Kabaka bamusibiremu babeere nga tebasobola kutunda ttaka nga Kabaka takitegeddeeko. Ssaabawolereza wa Buganda ali mu kukola ku nsonga eyo.

Ekibuuzo; Woofiisi yo etwala eby’obuwangwa, ekozeewo ki okugonjoola enkaayana mu bika?
Owek. Kyewalabye: Tubadde tubalaga ebiragiro bya Kabaka. Kye tusigazzaayo, kwe kumanyisa abazzukulu ekituufu. Twagala emisango gya Kisekwa nga gisaliddwa gimanyisibwe abazzukulu. Twala ekyokulabirako ky’omusango gw’ekika ky’Abembwa, Mutasingwa yagusinga naye gwe yasinga yalemera ffayiro! Twetaaga tutegeeze abantu ebivudde mu nsala. Kubanga abantu abasinga obungi tebategeera bikwata ku bika byabwe. Ekyokubiri, Kabaka mu kulambula obutaka bw’ebika, agenze ku butaka obumanyiddwa n’Omutaka amanyiddwa. Kabaka buli lw’alambula Essaza, alambula n’Obutaka bw’ekika. Kino kyongera amaanyi eri omukulu w’ekika.

Linda ekitundu ekyokubiri. Alina ky’oteesa, tuwandiikire ku newseditor.info@gmail.com

The post Minisita Kyewalabye Male atwala Ebyobuwangwa, Embiri n’Ennono ayogedde lwaki bataddewo akakiiko ku biraamo by’Abataka abakulu b’ebika appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2021/04/minisita-kyewalabye-male-atwala-ebyobuwangwa-embiri-nennono-ayogedde-lwaki-bataddewo-akakiiko-ku-biraamo-byabataka-abakulu-bebika/feed/ 0