Ekif: Maama wa Ssegirinya ng’afuna ssente obukadde butaano mu ofiisi ya Sipiika Anita Among

● Biyingiziddwaamu Sipiika Anita Among eyawadde kavu bakyala b’abasibe
● Ddiiru erimu okwegaana Kyagulanyi olwo balyoke bayimbulwe
● Abasibe ababiri bagaanyi abakulira NUP okutwala obuyambi mu maka gabwe
● NUP nayo tetudde, esonze ku Fredrick Lubwama gwereeta mu kya Ssegirinya
● Mu Makindye West, NUP esibidde ku Haji Farouk Ntege era aweereddwa eburagiro ebipya

Bya Moses Mugalula 
KAMWOKYA
NEWS EDITOR MEDIA

EKIBIINA kya National Unity Platform (NUP) ekikulirwa Hon. Robert Ssentamu Kyagulanyi kigudde mu lukwe olupangobwa wakati w’ababaka bakyo ababiri abaasibwa okuli Muhammad Ssegirinya owa Kawempe North ne Allan Ssewanyana amanyiddwa nga ‘Bwino’ owa Makindye West nga lupangiddwa n’abanene mu NRM!
Ddiiru epangibwa, y’ababaka bano ababiri okwegaana NUP n’omukulembeze waayo Robert Kyagulanyi, olwo balyoke bayimbulwe.
Byonna ebipamgibwa, kigambibwa birimu omukono gwa sipiika wa Palamenti Anita Among nga kino kyesigamizibwa ku kyabaddewo ennaku ezo, bweyayise bakyala b’abasibe ababiri ssako maama wa Ssegirinya, buli omu n’amuwa obukadde butaano bagende beekubeko enfuufu!
Bino byabadde ku offiisi ya Sipiika esangibwa ku Palamenti.
Abasibe ababiri basoose kugobwa buyambi abakulu mu NUP okwabadde Ssabawandiisi Lewis Rubongoya bwe baabadde babatwalidde mu kkomera e Kigo okwabadde n’essente enkalu ate ne babalagira, tebageza ne balinnya mu maka gabwe nti batwalayo buyambi, bo bakoowu!
Tewali kyewunyisizza Rubongoya n’abakulu mu NUP nga Ssegirinya ne Ssewanyana kubagoba, kyokka tewaayise na lunaku, bakyala b’abasibe bano ne balabibwa mu ofiisi ya Sipiika Anita Among nga bakeasibwa akavangata bonna nga basanyufu era okufuluma ku Palamenti, bagenze bakuumibwa ba mmundu.
Kati abakulu mu NUP batiddemu ku kigenda mu maaso wakati w’ababaka bano ababiri n’ebikonge mu NRM era oluvuvuumo oluyitingana nti Ssegirinya ne Ssewanyana baliyimbulwa essaawa yonna batandike okugusambira mu NRM, NUP eganye okulutwala ng’olwolusaago!
Ekibiina kitandise okunonyereza ku nkolagana y’ababaka babwe abasibe ne Sipiika Anita Among amanyikiddwa nga bituli bingi wa NRM atumibwa ku misoni ensajja.
Eby’omunda bigamba, bano essaawa yonne balikkirizibwa okweyimirirwa badde mu Palamenti kyokka aliddamu okubalaba mu nteekateeka za Kyagulanyi ne NUP, aliba mwana wa mwana!
Okusinziira ku lukwe olupangibwa,  bano olunayimulwa, baluddusibwa mu malwaliro ebweru okwekebeggyebwa nga byonna gavumenti y’egenda okubisasulira mu ngeri y’okukyokooza aba NUP abeekalakaasiza mu ggwanga ly’America olw’eyali Sipiika Jacob Oulanyah kati omugenzi, eyatwalibwa okujjanjabibwa mu ggwanga eryo nga bagamba, yalisigaddeyo Uganda.
Akaseera ababaka bano ke banaamala nga beetawula mu malwaliro ebweru, kijja kutta omudigido aba NUP gwe baali basuubira nga bayimbuddwa.
N’olwekyo abawagizi ba Ssegirinya ne Ssewanyana ababadde babasuubira okukomawo bajanjawaze eby’obufuzi, ebyo byammwe! Bali mubasuubire okuva e Kigo nga bantu balala nnyo, ne bw’obalinnyako nga tebayinza kwenyeenya! 
Eyo ye ddiiru epangibwa wakati w’ababaka ababiri abasibwa Ssegirinya ne Ssewanyana ko ne Gavumenti ya NRM, abakulu mu NUP gyebaaguddemu edda!

NUP EZZAAKO KI
Okuleka eby’okunonyereza ku ddiiru eno, ekibiina kya NUP kitandise okuteekateeka abanadda mu bifo bino era okwogerezeganya nabo n’okubaako emirimu emitongole gyebatumwako kyatandise dda!
Bano ekibiina kibawadde obuvunanyizibwa obw’enjawulo kibayambeko okwongera okusimba amakanda era ng’okulonda wekunaatuukira, bamenya mu jjenje kkalu.

FREDRICK LUBWAMA ASONGEDDWAKO MU KYA SSEGIRINYA
W’osomera bino ng’ono yatandise dda n’okutuuza enkiiko ssaako okuyitibwa ku mikolo egy’enjawulo mu Kawempe North.
Ekibiina kyamutisse eddiimu ly’okukwanaganya abawagizi ba NUP e Bungereza ng’omubaka ow’enjawulo mu ofiisi ya Pulezidenti Robert Ssentamu Kyagulanyi.
Fredrick Lubwama muyivu bano ab’ebbaluwa ate nga tayesezza mpiki za byabufuzi bitooke by’ebigwa! 
Ajjukirwa nnyo mu UYD ng’akyali Makerere University ng’omu ku bamusaayimuto abaali abakulembeze b’abayizi nga tayogedde, bitooke bye bigwa!

Mu by’obufuzi bya Kawempe North mumanyifu nga y’avuganyako ku bubaka bwa Palamenti n’akola bulungi yadde nga bamuwangulira watono webagamba awaalema ekkere okubuuka!
Abakulu mu NUP basonze ku Mw. Fredrick Lubwama ku by’okumuleeta ku ky’omubaka wa Kawempe North emirimu Ssegirinya.
Lubwama yakuguka mu bya tekinologiya mu mafuta era mugagga atanoonya mulimu wabula okuweereza abantu b’e Kawempe North.
Waabaddewo abagamba omukisa guweebwe Sulaiman Kidandala oba okukomyawo Latif Sebaggala Ssengendo kyokka ababiri bano akasengejja kaabawandudde. 
Abakulu mu NUP batunuulidde Hon. Latif okuba ng’abadde ku bwa MP bw’ekitundu kino okumala ebisanja ebiwerako ate nga ne mu kulonda okuwedue,  yagyeemera ekibiina ne yeesimbawo obwanamunigina. NUP si nneetegefu kukomyawo Latif Sebaggala. 
Ate ye Sulaiman Kidandala eyawawaabira Ssegirinya nti teyasoma, ye, Lubega Mukaaku ne Micheal Mabikke beegatta dda ku kisinde kya Dr. Besigye ekya ‘Red card’, ekigambibwa okujja kirwanyise NUP.
Kidandala naye yasuuliddwa era ku bannakibiina abasonyiyiddwa NUP olw’okwesimbawo obwannamunigina mu kulonda okuwedde ne bakomezebwawo mu kibiina, ono ne banne Mukaaku ne Mabikke tebaliiko. 
Kidandala ne Latif Sebaggala balabibwa nga bakyewaggula, abatakyayinza kumalagakkirizibwa kudda.

EBITINOTONO KU FREDRICK LUBWAMA
● Mutabani w’omwami n’omukyala Daniel Mayombwe abo mu Kitambuza Zone III , Kanyanya Parish, Kawempe Division. Eno gyeyakulira. 
● Fred Lubwama okusoma yakutandikira ku Bat Valley Primary School, n’agenda mu Namilyango College, Caltec Academy, Makerere University, Aptec Worldwide School of Computing ne Northern Alberta institute of technology. 
● Mufumbo alina abaana bana
● Akolera mu kkolero lya Gas ne Oil mu Canada. 
● Ye pulezidenti wa bannayiganda bonna ababeera mu kibuga Alberta, Canada.
● Yaliko  omumyuuka wa ssentebe w’abayizi ba UYD Makerere University okuva mu 2001-2002.
● Yaliko minisita w’abayizi e Makerere era ng’abayizi bamulondako ku buvunanyizibwa obuwerako.
● Yalondebwako ku bwassabawandiisi bwa DP mu muluka gw’e Kanyanya 
● Okuva mu 2002-2008 yali General Secretary w’olukiiko lw’abavubuka mu Kampala.

HAJI FAROUK NTEGE AJJA MU KYA SSEWANYANA
E Makindye West, buli kimu kitambula bulungi okulaba nga Haji Farouk Ntege aleetebwa mu kifo kya Ssewanyana.
Mu kulonda okuwedde, kaabula kata kaadi ya NUP Haji Farouk agitwale era bangi bagamba, Ssewanyana yasala nsawo.
Nga tannakwatibwa, Ssewanyana yali ayise bannamawulire n’abategeeza nga ye bwatajja kukomerawo ku kaadi ya NUP mu 2026.
Ebintu bibadde tebitambulira bulungi Ssewanyana mu NUP nga bangi bamutankana olwobutaba muwulize eri kibiina kye nga bakimussaako nti atagalatagala nnyo.

Bino ebya ddiiru n’abanene mu NRM olwazze, aba NUP ne bagulaba ng’omukisa, Ssewanyana oba abaviira, abaviire.
W’osomera bino nga NUP yalonze Haji Farouk ku lukiiko lwa ‘Kunga’ olwa Kampala yonna, asaggulire NUP obuwagizi.
Haji Ntege musajja muyivu, mukozi nnyo, mugagga ate mugabi ng’ejjenje. 
Tekyewunyisa NUP kuba nga gwesibiddeko olukoba ku bwa MP bwa Makindye West.

Olina ekiteeso kyonna ku ggulire lino? Yogerako ne Editor ku WhatsApp 0772 523 039

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here