EKIFANAANYI: Omutuuze attulukuka omusaayi oluvannyuma lw’okutemebwa basajja ba Kigaba

● Asooka kuta nte ne zi baliira emisiri gy’emmere n’ebitooke, batere beegobe
● Poliisi ebagamba yo Kigaba emutya teyinza a kumukwata bagume
● Abantu teri abayamba, amayumba baagadduseemu, basula mu nsiko
● Bayise Pulezidenti abiyingiremu, oba si kyo berwaneko

Bya Emma Ssejjaaka
KIKYUUSA, LUWEERO
NEWS EDITOR MEDIA

EBIRI ku byalo okuli Kyampologoma, Kakoola, Nakasejjere ne Namuningi mu muluka gw’e Kaswa, Kikyuusa mu disitulikiti y’e Luweero awaali olutalo olwaleeta gavumenti ya NRM mu buyinza si birungi, abatuuze abali eyo mu bikumi basula ku tebuikya olw’omugagga Kigaba Bukenya abafuukidde ekyambika! 

Bamulumiriza okubasindikira bakifeesi emisanattuku nga bali mu nnimiro ne babatema n’okubakuba emiggo, oluusi babazinduukiririza eyo mu matumbi budde ne babakuba nnyo, nga kuno kw’otadde okubakolako efujjo, bw’ata ente ze eziri eyo mu 600 nezirya emmere mu misiri gy’abatuuze gyonna okugikaliza, ssaako n’okukkakkana ku nsuku ebitooke ne zibirya!
Okumanya Kigaba ajooze abatuuze n’ayitawo, bwe kabatanda ne mumuloopa ku poliisi, ajja n’omusaayi mu kaveera n’ategeeza poliisi ng’abamuwawaabidde bwe baasaze ente ze n’ezimu ne bazibuzaawo, olwo mmwe abazze okuloopa ng’ate muggalirwa mu kaduukulu okutuusa nga muliyiridde kalibujoozi Kigaba oba si kyo, nga muli bakuvundirayo.
Abantu abasibiddwa ku biragiro bya Kigaba tobala, abatuuze batugambye Poliisi okuli ey’e Kamira n’e Kikyuusa mu Luweero omwami ono zimutwala nga Katonda, singa ente ze zikuliira emmere sirika busirisi kuba oli takwatibwako, gowe amuggulako omusango are gowe akwatibwa!
Abatuuze betwayogeddeko nabo batugambye, Pulezidenti Museveni bamusaba ajje e Luweero abataase ku kalittima Kigaba kuba abakulembeze b’ebitundu, omubaka wa Pulezidenti e Luweero ne poliisi, bazinira ku ntoli za Kigaba!

Ono ettaka ly’asongako bagamba aba alyagala era akola buli kimu okulyezza nga mwemuli okusindika basajjabe ne bamenyawo enju yo ate nga tolina wa kumuloopa!
Waliwo omusuubuzi wo mu Kampala Haji Ibrahim Lumu, ono enju ye,  Kigaba yamulabiriza mu biseera by’omuggalo n’agikoonawo nga ne bweyagezezzaako okugizzaawo era Kigaba yagenze kiro n’agimenyawo. Twatuseewo ng’eri ku ttaka.
Kigambibwa, Kigaba alina edduuka lya Sipeeya okuliraana essundiro ly’amafuta eriyitibwa Don awo mu kabuga k’e Kikyuusa era wano wajja abavubuka bakalibukambwe batwala ne batigomya ebyalo n’okubisuza ku tebuukye.

Edward Bucha ng’ono mupakasi w’omusuubuzi Haji Lumu bw’aba akunyumiza engeri basajja ba Kigaba bwe bamulumba n’amajambiya ekiro, otonnyesa n’amaziga! 
Yatugambye, “Abasajja okwali Julius ne Micheal batabani ba Kigaba bemmanyi obulungi, baatulumba ekiro awo ssaawa nga bbiri. Nnali ne munnange nga tufumba kyaggulo. Tugenda okuwulira ekibinja ky’abasajja abetoloola akayumba kaffe nga n’amajambiya ge bakutte geewagala era tuba tuli awo nga beesozze akayumba mwetwali bonna nga babagalidde embuukuli z’emiggo!”
Batandikirawo okubakuba obubi nga bwebababuuza kyebakola ku ttaka eryo. Okumanya babakuba nnyo, Mzee Bucha yazirika ne basalawo bamuziike mu kinnya ekyali awo era agenda okudda engulu nga badduse dda, baaleka balowooza afudde.

Ye munne bwe baali, yadduka kiwalazima n’asibira ewa ssentebe w’ekyalo ayitibwa Ponsiano Kabale, kyokka nga n’ono abatuuze bamwemulugunyaako nti tabayamba, musajja wa Kigaba!
Baddamu ne babaumba emisanattuku Bucha bweyali ne banne okwali Kizza ne Kawagga ewa Kaweesa era ne babakuba buli nnyo nga bagagamba bakomye okukolera Haji Lumu, kuba ettaka kwe bali omugagga Kigaba alyagala.
Ensonga zino zatwalibwa ku Poliisiy’e Kamira etwala ebimu ku byako bino kyokka eyali agitwala Bamwesigye n’abagamba Kigaba nabo bamutya, beyongereyo mu bakama babwe ab’e Luweero wabula nga nabo bano, Kigaba abayisaamu amaaso.
Difas Joshua, yakwatibwa ku misango gyeyatugambye nti gyali mipangirire, nga Kigaba agamba yatema ente ze. 
“Mu kkomera e Kitalya navuddeyo mu December omwaka oguwedde. Bansooseza mu kkomera e Butuntumula, wuuyo Nakasongola olwo kwekunziza e Kitalya nga mu makomera gano namazeeyo emyezi 15 okutuusa lwe baantadde nga sirina musango.”
Moses Mucunguzi ng’ono faamu maneja wa wa Mukwasibwe Silver yatulaze ennimiro omwali emmere yabwe kyokka emisiri gyonna, ente za Kigaba ne zigirya! 
Agamba yategezaako ssentebe waabwe owa Kakoola LC1 Mw. Ponsiano Kabale naye ebintu ebirimu Kigaba Abitya.   
Ku kyalo kino, RPC was poliisi y’e Luweero yakubako olukiiko okuwulira ebizibu ebiruma abatuuze, n’alambula n’emisiri egyali giriiriddwa ente za Kigaba kyokka naye yadda mu bya ku bagamba kugenda baggulewo omusango ku poliisi ng’akimayi bulungi abatuuze batiisibwatiisibwa ate poliisi gyebaddukira okwekubira enduulu, eggalira baggalire. 
Abatuuze bagamba, batuuka n’okugula ssengenge bataayize ennimiro zabwe kyokka basajja ba Kigaba bamusala ne bayingizaamu ente wakati mu bujoozi n’ettima. 
Abatuuze okuli Mw. Ongwen, Maama Namugga Sylivia n’abalala nabo baatulaze nnimiro omwali emmere yabwe, ente za Kigaba ne zigirya nga kati tebalina na gyebalya.
Muky. Naggawa Cecilia ye ente zamuliiridde emisiri gy’emmere esatu. Ebu Sylivesto Muliro yatufambye yazaalibwa mu ggombolola y’e Kamira ku kyalo Kakoola nti kyokka abadde talabangako nti za mulunzi zonna zirya mmere y’abantu ng’eza Kigaba.Yagambye ziba zirambiddwako EK (Ekitegeeza Erasimus Kigaba). Yatugambye yalima kasooli yiika ssatu ne lumonde kyokka talina kyeyaggyeeyo.
Abatuuze baagala pulezidenti akwate mu Kigaba, ayogere gy’ajja obuyinza okutwalira amateeka mu ngalo, okubawenduliranga ab’ebijambiya babateme, okutwala ettaka ly’abatuuze ku kifuba n’okusumulula ente ze zirye emmere yabwe.

ENGERI KIGABA GY’AYAGALA OKUBBA ETTAKA LYA HAJI LUMU
Endoliito ku ttaka ly’omusubuzi womu Kampala Haji Ibrahim Lumu ne Kigaba zirudde nga ne mu kkooti zatuuka dda ne mu ofiisi ya Pulezidenti.
Ab’obuyinza baalagira dda Kigaba aleete ebiwandiiko ebiraga obwannanyini ku ttaka lya Haji Lumu kw’asalimbira naye tabitwalangayo. 
Haji Lumu yatugambye, efujjo Kigaba ly’akola ku bantu yewaana nga bwetali poliisi eyinza kumukwata,  kkooti nazo zimutya era nti abamutwalayo bamala biseera.

“Twasazeewo tuddukire mu ofiisi ya Pulezidenti kuba ofiisi endala zitusobedde. Ebikolobero Kigaba by’azze akola ku batuuze tagambwako, basajja be batemyetemye abantu, ennyumba zaffe agimenye, ensuku zaffe ente ze ziziridde, ajja ku ttaka lyaffe n’azimbako nga ne bw’otegeeza poliisi terina ky’ekolawo.” Haji Ibrahim Lumu bweyatugambye.

(Mu kitundu kyaffe eky’okubiri ku ggulire lino, tugenda kubaleetera bwino akwata ku ttaka lino eriri ku yiika 221, Kigaba avaawa okutandika okuyiikiriza abatuuze era bannyini lyo abatuufu be b’ani).
Alina ky’oteesa ku nsonga eno, weereza obubaka kuba ssimu y’omukunganya 0772523039

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here