BYA NEWS EDITOR

OLUVANYUMA lwa Ssabawaabi wa Gavumenti okusuuza munnamateeka w’omu Kampala Hassan Male Mabirizi omusango ku buyigirize bwa Pulezidenti wa NUP Robert Ssentamu Kyagulanyi ate oluvannyuma n’eguta, olwaleero yeddizza omusango omulala omuwaabi y’omu gwe yaggudde ku Paasita Aloysius Bujingo owa House of Prayer Ministries ogwekuusa ku by’okumenya ebiragiro by’ekkanisa n’awasa omukyala ow’okubiri.
Abatunuulizi b’ensonga bagambye, na guno gufudde, Mabirizi alabika akomye ku munaabo.
Munnamateeka Moses Kabuusu agambye kino si kipya naddala eri abo Gavumenti b’eba teyagala bavunaanwe olwokwewala ebiyinza okuddirira.
Mu bbaluwa eyafulumye ku Lwokusatu nga eriko omukono gwa Janet Kitimbo ono nga ye Resident Chief State Attorney atwala Ntebe ku lwa Ssabawaabi (DPP), egambye nti Ssabawaabi wa Gavumenti ategeeza omulamuzi omukulu owa kkooti entebe ng’omusango No. 666 n’okusaba okwateekebwa mu kkooti y’omu No. 22/2021 mu musango oguvunaanwa Paasita Bujingo ne muninkiniwe Susan Makula Nantaba, omuwaabi wa Gavumenti omukulu bw’agweddizza.
“Nga tusinziira mu Ssemateeka ya 1995 akawaayiro 120 (3) (c) n’akalala aka 42 (1) (a) ne (c) mu tteeka erifuga kkooti Cap 16, tukutegeeza nti Omuwaabi wa Gavumenti omukulu yeddizza omusango guno.”
Ebbaluwa ya Kitimbo, bw’esoma.
Asabye omuwaabi Male Mabirizi okutwala ew’omuwaabi wa Gavumenti e Ntebe ebiwandiiko byonna kw’abadde yeesigamye okuwaabira Bujingo ne Makula ssaako amawulire aganayamba Gavumenti mu kuwaabira Bujingo.
Kopi y’ebbaluwa eno eweereddwako Mabirizi ne munne Rutaro Robert bwe baali bawaabwa.
Kino kitegeeza, eby’omusango guno Male Mabirizi abinnyuse bubimbi. Bino webiggyidde ng’ekitongole ekifuga ebiweerezebwa ku mpewo kiwadde Male Mabirizi obutambi okuli amaloboozi ku bya Bujingo okuwasa Makula nga kabwejungira yabyogerera ku leediyo ye eya 107 Salt fm. Kati bino byonna musajja wattu Mabirizi birabika byamumenyedde bwereere.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here