BYA MUSASI WAFFE

KKOOTI enkulu mu Kampala eyisizza ekiragiro eri abawawaabirwa bana okuli Brig. Gen. Peter Candia aduumira eggye erikuuma Pulezidenti erya SFC, Grace Akullo (Akulira ekitongole kya bambega ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango wali e Kibuli), Ssabaduumizi wa Poliisi Martin Okoth Ochola ne Ssaabawolereza wa Uganda.
Omulamuzi mutaseka Musa Ssekaana bano abalagidde okuleeta mu Kkooti omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija ng’Olwokusatu nga 12/January/2022 terunnaziba.

Bannamateeka ba Kakwenza okuli Kiiza Eron, Luyimbaazi Nalukoola ne Ronald Samuel Wanda be baddukidde mu kkooti nga baagala eragire, omuntu waabwe aleetebwe oba mulamu, oba mufu! Kino kkooti enkulu ekkiriziganyizza nakyo.
Bo abawawaabirwa abana bakiikiriddwa bannamateeka babiri okuli; Kahwa Christine ne Adrole Richard.
Eby’okukwatibwa kwa Kakwenza byekuusa ku byazze awandiika ku Gen. Muhoozi Kainerugaba, mutabani Pulezidenti wa Pulezidenti Museveni.
Bano banaamuleeta mu kkooti oba bsnagiyisaamu olugaayu? Ggwe olowooza otya?

Oteesaaki ku ggulire lino? Yogerako naffe ku WhatsApp 0772523039

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here