EKIF: Martin Kigozi eyakwatiddwa ajjukirwa lweyakola effujjo ku baweereza ba Kabaka aba Buganda Land Board

Bya Meddie Kityo
MASAKA
NEWS EDITOR MEDIA

EBYA Martin Kigozi ateekerateekera ekibuga Masaka eyakwatiddwa ku Lwokutaano bibi! 
Ono ayolekedde okusimbibwa mu kkooti y’abalyake n’abali b’enguzi, nga bakumusoosa mu kakiiko ka State House akanoonyereza ku bulyake n’obuli bw’enguzi, bamukunye ku mivuyo ne ddiiru z’azze yenyigiramu ng’akozesa ofiisi ye.
Ab’ebyokwerinda e Masaka nga bakolera ku biragiro bya Ronald Katende Kinene omubaka wa Pulezidenti atwala ekibuga Masaka baakutte Martin Kigozi abeeko by’annyonnyola Poliisi.
Kyaddiridde akakiiko k’ebyenguudo mu Masaka okukizuula nti abadde akozesa ofiisi ye okutunda ettaka ly’ebibangirizi by’enguundo abantu nebazimbamu amayumba ye loodi ne yeeyoolera omusimbi wadde ye Kigozi abyewakana! 
RCC Katende yeyalagidde Poliisi okuggalira Martin Kigozi oluvannyuma lw’akakiiko k’enguudo okulemesebwa okulambula ezimu ku nguudo abagagga nga bagamba Martin Kigozi yabawa dda ppulaani bazimbemu ebizimbe, ekyaggye ab’akakiiko mu mbeera. 
Kwekutemya ku RCC Katende era bino olwamugudde mu matu, kwekuwa poliisi ebiragiro, Kigozi akwatibwe mu bwangu. 

KIKI EKYABADDEWO
Dr. Abed Bwanika, omubaka wa Palamenti akiikirira Kimanya-Kabonera nga y’akulira akakiiko k’ebyenguudo mu kibuga Masaka yasoose kulemesa omugagga eyabadde azimba ekisenge okuziba oluguudo olumanyiddwa nga Nalubaale Road.
Dr. Abed Bwanika n’abakakiiko ke baaguddewo ekigwo, omugagga bweyabagyiddeyo ppulaani emukkiriza okuzimba mu luguudo wakati nga Kigozi yeyagiyisa. Akakiiko kwekumukubira essimu ajje abitebye.
Olwazze, Kigozi yagezezzaako okupalappalanya nga by’ayogera tebigatta, ekyaggye meeya Florence Namayanja mu mbeera, n’abakakiiko k’ebyenguudo.
Meeya Namayanja yagambye, akakiiko akateekerateekera ekibuga ssaako ofiisi ye, baasazaamu ppulaani z’okuzimba mu ppulooti ez’ekimpatiira kyokka ekyabeewunyisa ate ye Kigozi okubayisaamu olugaayu n’agaba olukusa bazizimbemu.
Era wano Kigozi teyasusseewo, n’akwatibwa. 
Kigozi aludde ng’asongebwamu olunwe ku by’okukuba ddiiru bw’eziti nga ku luno, ddiiru y’ekkubo eriyita awo ku Sauna okutuuka ku club ya Ambiance ye yamulakidde ne bamuyoola.
Kigambibwa Kigozi ekkubo yaliguzizza omuggagga omu (amannya gasirikiddwa) ng’ono ekkubo yalizimbyemu n’ekisenge kya bbulooka z’omusenyu ezimanyiddwa nga ‘99’.
Ng’oggyeeko ebigambibwa nti atunda ebibangirizi by’engundo, kigambibwa nti Kagozi abadde amazeewo buli kifo ekyalekebwawo omubeera omuddo kyebayita ‘green belts’ omuntu wayinza okuwummulira byona nga yekobaana n’abaggagga ne bakyusa entekateeka y’ebifo ebyo.
Ebimu ku bifo by’alumirizibwa okwekobaana n’atunda kwe kuli Mutuba Gardens eziri mu maaso ga Hotel Brovad ne Mapple Leaf wamu n’ekibangirizi kya Liberation square e Katwe nga kyonna abagagga baakikubako dda zi poloti okukyetoloola newasigalawo kawugiro. 
Ekibangirizi ekya golf course nakyo abagaggga bakimalawo dda nga yabaguza ng’akolagana n’olukiiko lw’ettaka mu Masaka.
Mu ngeri y’emu, ekibangirizi ekyali eky’abaana webazanyira kati awaatekebwa akatale mu ngeri y’ekigumaaza, waliwo omugagga ayogerwako nti agenda kuzimbawo ebizimbe.
Kigozi we baamukwatidde nga n’ekisaawe kya Masaka recreation ground nakyo abadde mu kkobaane okutundako zi poloti okukyetolola.
Ngojjeeko bino, Martin Kigozi yomu abade asasuza abantu ssente okubayisizamu ‘plan’ z’okuzimba amayumba gabwe nga Seem Ssempappe ono, tayinza kuyisa ppulaani nga tomuwadde ekitino ennyo, kakadde.
tewali plan eyita eri wansi wa kakadde kyokka nga bw’omusaba lisiiti okulaga nti osasudde, awoza mbu ssente ziba za minisita wa bibuga ne meeya.

KIGOZI LWE YAKOLA EFFUJJO KU BAWEEREZA BA KABAKA
Martin Kigozi ono, emabegako awo, yayingirira ettaka ly’Obwakabaka n’akola effujjo ku baweereza ba Ssaabssajja ng’abalemesa okwerula empenda zaalyo mu kifo ekimanyiddwa nga Kyakumpi.
Kigozi yayogerwako ng’eyali mu kkobaane ly’okugingirira ebyapa n’okulikyusa litundibwe ng’alifula lirye. 
Yakulemberamu poliisi okuswaza abakoozi b’Embuga ne batuuzibwa mu ttaka era mayor Namayanja bweyamukubira essimu okukomya ejjoogo ku baweereza ba Kabaka, yamuddamu na bboggo nti amwesonyiwe si yeyamuwa omulimu.

YAKOLA KAMPUNI Y’EKIMPATIIRA
Kigozi Martin yabadde akoze kampuni ey’ekimpatiira n’ewebwa omulimu gw’okukwatanga bannamasaka abatalina zi ppulaani z’amayumba gabwe. 
Kampuni eno ebadde yiye nga mukyalawe y’agikulira era enyagulude abantu bangi. Abantu babade bagenda mu yafesi ye ayisemu ppulaani zaabwe n’agaana nakulinda nozimba najja n’akukwata ng’okukuta omala kusasula sente mpitirivu.
Ono kati asigalidde kutwalibwa mu mbuga z’amateeka avunaanibwe okukozesa obubi wofiisi ye.

WAKUKUNYIZIBWA AKAKIIKO KA STATE HOUSE AKALWANYISA OBULYAKE
Okuleka okukola sitatimenti ku poliisi, Kigozi ayolekedde okugasimbagana n’abakakiiko ka State House akalwanyisa obulyake ssaako ofiisi ya Kaliisoliiso wa Gavumenti ku bya ddiiru z’ebibangirizi by’enguudo n’okugaba ppulaani ez’ebicupuli.
Akakiiko akateekerateekera ekibuga kaasazeewo okuyimiriza buli Kigozi gwe yali yawa olukusa okizimba mu kifo ekiriko akabuza, ayimirize okuzimba okutuusa ng’akakiiko akeetegereza ebizimbe mu kibuga, kaasazeewo eky’enkomeredde.

E MASAKA BAAGALA KIGOZI AGOBWE
Akakiiko era kaagala minisitule y’abakozi okubawa ateekerateekera ekibuga Masaka omupya, Kigozi ddiiru agende azikutulire ewalala.

Olina ky’oteesa ku ggulire lino? Weereza ekirowoozo kyo ku WhatsApp 0772523039

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here