EKIRI E MASAKA: Enkambi ya Mpuuga eguddemu nnabe abawagizi be 100 beegasse ku Mbidde

0
359

Bya Sumaiya Nakagiri

OLUNAKU lw’eggulo, Hon. Fred Mukasa Mbidde, ssentebe wa DP owa disitulikiti y’e Masaka era nga ye mumyuuka wa Ssenkaggale wa DP mu ggwanga ateekwa okuba nga yasuze bulungi oluvannyuma lw’ababaadde abawagizi 100 aba Hon. Mathias Mpuuga bwebavuganya ku ky’omubaka wa Masaka Municipality okusala eddiiro ne bamwegattako.

Mbidde ng’ayogera eri ab’amawulire eggulo nga y’akegattibwako ababadde bawagira Mpuuga

Bano abaabadde n’abakulembeze mu nkambi ya Mbidde abalala abaasobye mu 200 batindizze eggendo okuva e Masaka mu Buddu bonna nga bakwataganye n’ebirala, ne beeyiwa ku kitebe kya DP ekipya wali e Mengo, Balintuma road mu Kampala okumulaga essanyu n’obuwagizi.

Mbidde yali yagenda bweru wa ggwanga okujjanjabibwa oluvannyuma lw’okubwa ejjinja abavubuka abagambibwa okumpangisibwa Sulaiman Kidandala eyagobeddwa ku buteesiteesi bw’ebibiina, batabangule olukiiko lwa DP olw’okuntikko.

“Hon. Mbidde, ffe tubadde bawagizi ba Hon. Mpuuga era bulijjo atugamba alina amaanyi era ajja kukusobola. Kyokka bwetwamulabye ng’akola ogwobwakasanke nga bakukubye ejjinja bakutte, kyatunyiizizza era ne kitulaga nti mutiitiizi, omuntu ow’ettima ng’oyo, tayinza kubeera mubaka waffe mu 2021.” Aba Mpuuga agaasuze eddiiro bwebagambye.

Bamutegeezezza nti, “Tusaze eddiiro, Mpuuga ddala talina ‘work’. Tetuyinza kuwagira batabangule kibiina kyaffe olw’ebigendererwa byabwe. Ekituleese, kwekukukulisa abatujju ba Kidandala, okukulaga obuwagizi bwaffe n’okukututonera ebirabo ssebo Ssentebe wa DP owa Masaka.”

Mu birabo abawagizi ba Mbidde byebamwetikkidde mwabaddemu embuzi, enkota z’amatooke, ebibala, sseggwanga z’enkoko, ttule z’amagi n’ensimbi enkalu.

Mbidde eyabadde omusanyufu ennyo yagambye,”Mu Buganda tulina olugero olugamba nti ‘Nnyinimu w’ataba, ebikere birinnya enju. Bwenatuusibwako obulabe abalabe ba DP, naddukira mu ddwaliro ebweru w’eggwanga okujjanjabibwa. Olwo amalindirizi ne getuuma kyegatali nti ge ga Ssentebe wa DP e Masaka. Ago gaakulirawa agatakimanyi nti obukulu buno tebabulonda mu nguudo, wabula baba bw’akalulu mu disitulikiti? Ebibiina tukitwala mu maaso, move ku bacuba abo.”

Ennaku ezo, Omubaka Florence Namayanja ow’abakundi akalwanyisa Ssenkaggale wa DP Mao n’omumyuukawe, yerangiridde ku bwassentebe bwa DP, aba Mbidde kyebaayita omukyala ono okuzannya akandolindoli.

Mbidde asuubirwa okugenda e Masaka essaawa yonna ng’eno abawagizi be bamulindiridde okumwaniriza mu kitiibwa.

Mu kuddamu okulonda obukulembeze bwa DP e Masaka, Mbidde alangiridde, wakuddamu okuvuganya ku bwassentebe bwa Disituliki owa DP.

Ensonda zigamba, ne mu Ttabamiruka w’ekibiina anatuula e Gulu, Mbidde asuubirwa wa kuddamu okuvuganya ku kifo ky’omumyuuka wa Pulezidenti.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here