spot_imgspot_img

Top 5 This Week

spot_img

Related Posts

DDIIRU EBACAMUDDE: Baddereeva ba ttakisi basanyukidde ebisanyizo ebisabiddwa okuvuga bbaasi za Tondeka 980 ezijja


Bya Musasi waffe

KAMPALA
EMIRIMU egisoba mu mitwalo ebiri egitereddwawo aba kkampuni ya Tondeka Metro egenda okuddukanya bbaasi empya 980 ezijja mu Kampala okumalawo obulippagano bw’ebidduka, giweereddwa bakondakita ne baddeereva ba ttaxi nga Pulezidenti Museveni n’Obwakabaka bwa Buganda bwe baalagidde.  

Akalippagano ttakisi ke zireeta mu kibuga

Ebisanyizo ebisabiddwa baddereeva ba ttakisi abanaavuga bbaasi bibacamudde nnyo, Mustafa Mayambala akulira ekibiina kya UTRADA ekibagatta agambye byonna babirina era besunze emirimu gino.  

Mayambala atugambye, “Badereeva basanyufu olw’emirimu bannaffe aba Tondeka gyebawadde badereeva ne bakondakita ba takisi, kino kyennyini kyetwasaba Pulezidenti Museveni nti enkulaakuluna yonna ejja, bannyini mulimu gw’okusaabaza abantu be bateekwa  okusoosowazibwa.

Kituukiridde era tuli basanyufu.”Pulezidenti Museveni ne Katikkiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga baalagira aba Tondeka, emirimu gy’okusaabaza abantu giweebwe baddeereva ba ttakisi, ekyakoleddwa.

Bbaasi empya 980, omwaka guno wegunaggwerako zinaaba zonna zituuse mu Kampala era nga zisikidde ttakisi mu kusaabaza bannakampala nga bwekiri mu bibuga by’amawanga agawerako.

Ziizino bbaasi ezijja mu Kampala

Okusinziira ku ba kkampuni ya Tondeka, bbaasi 400 zituuka mu mwezi gwa mwenna,  bbaasi endala 200 zijja mu mwezi gwa kkumi, endala 200 mu November ate  180 zijje mu December.Zo ezigenda okukozesebwa mu kuyigiriza ba ddereeva ba ttakisi okuzivuga, zituuka mu mwezi gwa mukaaga omwaka guno. 

EBISABIDDWA ABA TTAKISI OKUVUGA BBAASI  

Okusinziira ku kirango ekyafulumiziddwa aba kkampuni ya Tondeka, abavuzi ba tatakisi bonna abakolera mu Kampala, Mukono ne Wakiso bategeezebwa nti wajja wakubaawo okusunsulwamu okufuna abo abanaavuga bbaasi za Tondeka basole okutendekebwa okunasasasulirwa kkampuni ya Tondeka.
“Osabibwa ggwe omuvuzi wa Taxi okutegeka ebiwandiiko bino wammanga nga birina kuleetebwa ggwe nnyini wabyo mu bwangu.” Ekirango kya Tondeka bwekigamba.

Mu bino mulimu: 

1. Ndagamuntu yo ey’eggwanga

2. Pamiti gy’olina kati ekukkiriza okuvuga mmotoka

3. Ebbaluwa ekakasa siteegi kw’okolera ng’essiddwako emikono ebiri egy’abamu ku baddereeva banno bwe mukola

4. Ebbaluwa ya LC mu kitundu gy’osula.

EKIRAGIRO KYA M7 KU BBAASI EMPYA

Mu baluwa ya Pulezidenti eri minisita w’ebyenfuna Matia Kasaija eya nga 31/07/2018 yagamba, “Bwenasisinankanye aba Hinduja Group ku by’okusooka okutuwa bbaasi 980 ez’ekika kya Asok- Leyland nakkirizza batuwe bbaasi ezozonna nga ziva Buyindi ate oluvannyuma, bazimbe wano kkampuni mwebanaakolera bbaasi endala ezinaakozesebwa okusaabaza abantu baffe.”
“Bbaasi zino nzikirizza, zikolere ku nguudo mwasanjala zonna eziyingira mu  Kampala wakati ate era kkampuni ya Asok ngiragidde esseewo enkolagana ne kkampuni yaffe wano eya Kiira Motors. Oluvanyuma lwa bino byonna, bbaasi zino zaakuddira bannayuganda abanaaba baguzeemu emigabo.” Ebbaluwa ya Pulezidenti bw’esoma.
Okusinziira ku kiragiro kya Pulezidenti, takisi si zakugobwa wabula, tezijja kuddamu kukolera mu Kampala wakati, nga zijja kukolera eyo ebbali bbali munda nga bweziyiwa abasaabaze ku luguudo bbaasi wezinabajjanga.
Zino z’ezimu ku nteekateeka gavumenti zeyaleese okumalawo omugotteko gw’ebidduka mu ggwanga Pulezidenti ennaku ezo gweyagamba nti gulemesa bamusigansimbi okujja wano nga singa bbaasi zinatandika okukola, zigenda kuba zisaba obusente butono nnyo ate nga mpitirivu, ekinaabakiteetaagisa bbanyini mmotoka ntono kuzireeta mu Kampala.
“Obutafaananako nga bbaasi endala ezibaddewo, aba Ashok baleeta bbaasi mpitirivu nnyo ate omulundi gumu. Kkampuni ezireeta ezze ezigaba mu mawanga n’ebibuga ebiwerako era zikola bulungi, mpangaazi, zisobola embeera ya Afrika, ate bw’ozituulamu obeera ng’ali mu nnyonyi.” Aba Tondeka bweyagambanga. Bategeezezza nti, ” Obukulembeze bwonna obunaaziddukanya bugenda kuteekebwateekebwa bulungi, nga bulina obukugu mu mulimu guno ate nga buli nnyo mu bantu ba bulijjo abalinnya mmotoka za lukale.” Aba Tondeka bwebategeezezza.
Bbaasi zino za kuyitibwa ‘TONDEKA’ nga za kika kya JAN, ekimu kw’ebyo ebika ebisinga obuwangaazi.
Mu kafubo ka Pulezidenti n’aba Hinduja Group, bakkiriziganyizza ku migaso gya baasi okusaabaza abantu mu bibuga nga bwezikendereza ddala ku buzzi bw’emisango era n’essente ezisasaanyizibwa mu by’okuketta obuzzi bw’emisango.
Abakulu baakirabye nti okutambulira mu bbaasi kuba kwa ddondolo nnyo, abaana abasoma, abakyala abaola mu butale, abavubuka ababa bagenda ku mirimu gyabwe ssaako abakadde n’abo abaliko obuleme.
“Mu mawanga bbaasi zaffe gyezisaabaza abantu, toyinza kusanga bulippagano ku nguudo, abakozi batuukira mu budde ku mirimu gyabwe. Eby’entabula biba birabika bulungi era n’enguudo zikuumibwa bulungi nga zitukula.” Aba Hinduja bwebaakakasizza pulezidenti.
Bagambye Pulezidenti ng’abatambulira mu bbaasi zino
bwebakekkereza ennyo, era amaka mangi agabadde gakozesa entambula za lukale, gagenda kuba nga gafissaawo nnyo ate nga baweereddwa empereza eri ku mutindo gw’ensi yonna.


EBIBUGA EBIRALA EBIKOZESA BBAASI 
Ebibuga mu Afrika bbaasi za Hinduja gyezikolera kuliko;  Dakar, Lagos, Abuja, Abidjan, Accra, Luanda n’ebirala bingi.
Gavumenti eyatutte obudde ng’enoyereza bbaasi zino yagambye za kikungu nga zijja kutambuliza abantu mu nbeera eyeeyagaza.
Okusinziira ku byakkanyiziddwako abakulu, aba Hinduja bagenda kutikkulira mu ggwanga sipeeya wa bbaasi zino era entendeka bannayuganda okuzikanika.
Amaduuka ga sipeeya wa bbaasi gakuteekebwa mu bitundu mu Kampala eby’enjawulo.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here

Popular Articles

error: Content is protected !!