EKIFANANYI: Kanso Bugaya (Asooka ku ddyo mu kanzu nga Omutaka Namwama amutikkula Amakula ga Kabaka mu Libiri e Mengo
Bya Moses Mugalula
KKAMPUNI ya Brooks Agro Farm eya munnamateeka Denis Bugaya, omuweereza wa Kabaka mu kitongole kya Buganda Land Board (BLB) etwalidde Kabaka Amakula nga gaatikkuddwa Namwama Omutaka Augustine Kizito Mutumba Nsereko, omukubiriza w’Olukiiko lw’Abataka Bajjajja Abakulu b’Obusolya era nga y’akulira Ekika ky’Ekkobe.
Bino byabadde mu Lubiri e Mengo ku Lwokuna nga December 18, 2025.

EKIF: Okuva ku kkono ye Hon. Lubyayi, Kanso Bugaya ne Nkinga mayor w’e Buwama
Omutaka Namwama yeebazizza nnyo Omuk. Bugaya olw’obuyiiya n’obukozi ng’ayanukudde omulanga gw’Obwakabaka ogukuutira abantu ba Ssaabasajja okukola obuteebalira kyokka n’okuleeta Amakula, akabonero akalaga obuwulize eri Kabaka.
Abakulira kkampuni ya Brooks Agro Farm, baawerekeddwako avuganya ku ky’omubaka wa Mawokota South mu Palamenti Hon. John Bosco Lubyayi Sseguya ne Mayor Nkinga.
Brooks Agro Farm Kitojjo esangibwa mu Buwama Town Council, Mawokota, mu disitulikiti y’e Mpigi. Farm eno etudde ku bugazi bw’ettaka erikunukkiriza mu yiika 30, nga kuliko enkoko eziwerera ddala.

Munnamateeka Bugaya ng’ayogera. Ali ne munywanyi we Hon. Lubyayi
Brooks Agro Farm ezze essa ssente mu nteekateeka z’Obwakabaka omuli okuvuggyirira emipiira gy’Amasaza ga Buganda nga okwambaza ttiimu y’essaza lya Mawokota ssaako okusuza, okuliisa n’okulabirira abazannyi baayo naddala Omuk. Bugaya weyabeerera ssentebe wa ttiimu y’essaza lino.

Brooks Agro Farm buli lukya eyongera okukula n’okugaziwa nga kati balunda ebyenyanja, benyigira mu kulima n’okulunda.
Eyambye nnyo mu kuwa abavubuka bangi emirimu era abasomero n’amatendekero agawaggulu okuli Uganda Martyrs University (UMU) Nkozi ennaku ezo abassizza omukono ku ndagaano ne nnyini Brooks Agro Farm, okuleeta nga abayizi bayigirewo eby’obulunzi n’obulimi (Demonstration farm).

EBIFAANANYI: Waggulu; Counsel Bugaya ng’ayogerako n’aba Uganda Matyrs University abamukyalidde ku Brooks Agro Farm. Bassizza omukono ku ndagaano okukolagana. Wansi; Ng’abalambiza Farm ye



Tuyozaayozannyo bannaffe aba Brooks Farm, olwokutwalira Beene, Amakula.
Olina ky’oteesa oba ky’oyagala okumanya ku ggulire lino? Weereza obubaka bwo ku 0701523039
