TUKOOYE EJJOOGO: Sipiika Kadaga ayise minisita w’ebyenjigiriza ku ky’okujeemera Palamenti

0
115

Bya Issa Kigongo

OMUKUBIRIZA w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rt. Hon. Rebecca Alitwala Kadaga akangudde ku ddoboozi n’ayita minisita w’ebyenjigiriza okulabikako mu Palamenti      ayanukule awamu nokutangaaza Ku nsonga z’enkyuukakyuuka mu by’ensonga ababaka zebaayimiriza kyokka minisitule n’eyeeyagaza. 

Kadaga okuvaayo, kiddiridde Hon. Betty Aol akulira oludda oluvuganya gavumenti okutabukira mu palamenti ng’agamba ejjoogo lisusse,  ebiteeso ebiyisibwa olukiiko lw’eggwanga, kisusse okubiyisaamu olugaayu.

“Ekikyasembyeyo, be bannaffe aba minisitule y’ebyenjigiriza okuziimuula Palamenti kyeyayisizza ng’eyimiriza enkyuukakyuuka z’ebyensoma olw’ebituli ebizijjuddemu n’ebibuuzo ebitalina ayanukula. Olwo Palamenti eba ekyalina mugaso ki nga n’amateeka getubaga, ate bannaffe mu gavumenti be bagamenya?” Hon. Betty Aol bweyabuuzizza.  

Ono yawagiddwa nnyo ababaka abatali bamu abategeezezza nga baminisita bwe basussizza okuyisa olugaayu mu palamenti.

Abakiise abawerako omwabadde n’aba NRM bassizza kimu ngqnkuyege,  baminisita bakubwe ku nsolobotto kuba ejjoogo eri Palamenti lisusse.

Mu kwanukula ababaka, Ssaabaminisita wa Uganda Rt. Hon. Ruhakana Rugunda asabye ababaka okweewa ekitiibwa nokuwa banaabwe  ebitiibwa awamu nobutakozesa lulimi lukambwe. 

Mu nsala ye, Sipiika Kadaga yalagidde minisita w’ebyenjigiriza ajje mu Palamenti annyonnyole ku by’okujeemera Palamenti.   

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here