‘SSAABALABIRIZI’ KAZIMBA ATUUKA LEERO KU LUTIKKO E NAMIREMBE WAKUTAMBUZA BIGERE OKUVA E NAKULABYE

0
182

Bya Musasi waffe

ABAKULISITAAYO n’abantu ba Katonda bonna bakedde kwekuluumulula okuva mu bitundu okuli Obulabirizi bw’e Mityana nobw’e Mukono okwaniriza mukwano gw’a bangi Dr. Samuel Steven Kazimba Mugalu, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda omulonde atuuka leero nga wakutambuza bigere okuva ku bitaala e Nakulabye okutuuka mu Lubiri lw’Obwassaabalabirizi ku lusozi Namirembe.

Kazimba wakutuuzibwa mu ntebe y’Obwassaabirizi ku Ssande nga 01/03/2020 ku mukolo gaggade okugunabeera mu lutikko y’Omutukuvu Paulo e Namirembe.

Okusinziira ku bakuliddemu enteekateeka z’okwaniriza Dr. Kazimba, akedde kusimbula okuva ewabwe mu Kyaggwe gy’abadde abeera oluvannyuma lw’okukwasa Dr. James Bukomeko amaka g’Obulabirizi bwa Mityana  ate nga ag’Obwassaabalabirizi, gabadde gakyayoyootebwa.

“Olubiri lwa Ssaabalabirizi luwedde okuyoyootebwa n’okussibwamu ebintu eby’ebbeeyi ebigya mu kitiibwa kye. Olwaleero lw’agayingira mu butongole.” Akuliddemu enteekateeka zonna bw’atugambye.

Mu kusimbula ewabwe e Kyaggwe,  Dr. Kazimba awerekeddwako oluserengedde lw’emmotoka era wakukyamira Seeta, agwe e Namugongo, wuuyo Ntinda, asibire ku bitaala e Nakulabye.

Mmotoka agenda kugibuukamu atambuze bigere nga bw’awuubira ku bantu ba Mukama.

Agenda kulinnyalinnya akasozi Namirembe wakati w’embuutu ezisindogoma, ennyimba eziwaana Katonda n’emizira emiyitirivu okuva mu nnamungi w’omuntu eyakunganidde edda e Nakulabye.

Olutuuka mu Lubiri lwe, wa kusuulako ebyambalo  by’ekkanisa olwo ayolekere lutikko awategekeddwa okusaba ku Ssaawa ttaano zennyini ez’okumakya.

Okusaba olunaggwa,  Ssaabalabirizi ayise abagenyi be abali eyo mu 120 ng’agenda ku basembeza ku kijjulo ekisoose mu maka g’obwassaabalabirizi.    

Enteekateeka zonna tuggya kuzibatusaako 

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here