Owek. Mariam Mayanja Nkalubo, minisita w’Ettaka e Mengo ng’ali n’abakungu ba BLB ssaako ab’Amasaza oluvannyuma lw’olusirika olwabadde ku Forest Park e Buloba mu Busiro
Bya Meddie Kityo, BUSIRO
ABAKULIRA ekitongole kya Buganda Land Board (BLB) ekikola ku kukuuma, okulabirira n’okuddukanya ettaka ly’Obwakabaka basomesezza Abaami b’Amasaza ga Buganda ku buvunanyizibwa bwabwe ku nsonga z’okuddukanya ettaka ly’Obwakabaka.
Ensisinkano y’abakulira Buganda Land Board n’Abaami b’Amasaza ssaako abamyuuka babwe ebeerawo omulundi gumu ku buli ntandikwa y’omwaka.
Wabula olw’ekirwadde kya ssennyiga omukambwe, aba Buganda Land Board batugambye, “Omwaka guno tetwasobola kutegeka lusirika luno ku ntandikwa y’omwaka nga enkola yaffe bwebadde bulijjo.”
“N’olwekyo, twasazeewo tutegeke ensirika ez’enjawulo okusinziira ku mabendobendo agakola Obwakabaka.” Ekitongole kya BLB bwe kitutegeezezza.
Abakulu batugambye, “Twatandikidde mu bbendobendo ly’e Kyaggwe era nga abaami okuva e Kyaggwe, Buvuma, Buluuli, Bugerere ne Bulemeezi beetaba mu lusirika olwo.”
Olusirika luno lwagguddwawo minisita w’Ettaka Owek. Mariam Mayanja Nkalubo era n’akubiriza abaami mu kitundu kino obuteesulirayo gwa naggamba mu nzirukanya y’ettaka ly’Obwakabaka kubanga guno omulimu gubakakatako.
Olwavudde e Kyaggwe, abakulu mu BLB baazizzaako olusirika mu Ssaza e Buddu ng’abalwetabyemu kwabaddeko abaami b’Amasaza okuva e Buddu, Ssese, Kabula, Mawogola ne Kkooki era nga n’eno, minisita Mariam Mayanja ye yabadde omugenyi omukulu.
Ensirika zino zafundikiridde mu Ssaza ly’e Busiro ku Forest Park Hotel e Buloba, ng’olweno lwetabiddwamu Abaami okuli owa Busiro, Kyaddondo, Mawokota, Butambala, Gomba, Buweekula, Ssingo, ne Busujju.
Zaggaddwawo Ssaabawolereza wa Buganda Owek. Christopher Bwanika ng’ono yakubiriza Abaami obutagezaako kulemesa nteekateeka za BLB wabula okukolagana n’abakungu b’ekitongole kino okukuuma n’okukulakulanya ettaka ly’obwakabaka.
Ono yategeezezza nti enkolagana ennungi wakati w’Abaami ba Ssaabasajja wamu ne BLB yentandikwa yenzirukanya ennungi ku ttaka lya Kabaka.
Yalaze nti Abaami ba Kabaka be basookelwako ku byalo, emiruka, amagombolola okutuukira ddala ku ssaza mu nsonga z’ettaka.
“Ekitongole kya BLB kye kyakwasibwa obuvunanyizibwa obwenkomeredde okuddukanya ettaka ly’obwakabaka kubanga be balina abakugu okutuukiriza obuvunanyizibwa obwo”. Owek. Bwanika bwe yategeezezza Abaami b’Amasaza n’abamyuuka baabwe.
Yabakalaatidde nabo nabo okutuukirize obuvunanyizibwa bwabwe okuli okukakasa abasenze n’okuzuula ettaka lya Kabaka yonna gyeriri.
Owek. Bwanika yagambye, “Tubadde tufuna embeera ng’abamu ku Baami ba Kabaka beekobaana n’abantu abalala okukumpanya n’okutunda ettaka lya Kabaka. Tusaba kino kikome bunnambiro”.
Ye Ssenkulu wa Buganda Land Board Omuk. Simon Kabogoza yategeeza nti waliwo Abaami abeetaba mu mbeera y’okugaba n’okutunda ettaka ly’Obwakabaka n’alabula nti omuze guno tegugenda kugumiikirizibwa.
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde Ssaabasajja yasiima n’alonda abaami b’Amasaza abapya. Kino kitegeeza bangi baayingira mu wofiisi nga tebamanyi buvunaanyizibwa bwabwe mu nsonga z’okuddukanya ettaka.
Eno y’ensonga lwaki abakulembeze ba BLB baakiraba nti kikulu okubabangula nga bayita mu nsirika nga zino.
Buganda Land eddukanya ettaka ly’obwakabaka erisoba mu square mile 1,000 nga lisangibwa okwetoloola Obwakabaka bwonna.
Abaami ba Kabaka beebazizza ab’ekitongole kya Buganda Land Board olw’emisomo nga gino ne bategeeza nti gibawagadde era bagenda kukola n’amaanyi okukuuma ettaka lya Kabaka nga bakolagana bulungi n’abekitongole kya BLB.
Abaami ba Masaza basabiddwa okukunga abantu abali ku ttaka ly’Obwakabaka okusasula busuulu n’okujjumbira enkola ya Kyapa mu ngalo, era bayimirize bunnambiro abo abeekobaana okwesenza n’okubba ettaka lino.
Enkola eno esuubirwa okunyweza enkolagana wakati w’ekitongole kya BLB, Abaami b’amasaza n’abantu ba Kabaka okumalirawo ddala obukuubagano.