KABAKA: EBISUUBIRWA MU KWOGERA KWA SSAABASAJJA ERI OBUGANDA OLWALEERO MU LUBIRI

0
439

 Bya Meddie Kityo

OBUGANDA bwonna bulindiridde n’essanyu lingi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II eyasiimye okwogerako eri abantu be ku ssaawa munaana ez’emisana ga leero ng’asinziira mu Twekobe wano mu Lubiri e Mmengo mu Kampala wakati.

Okwogera kwa nnyinimu, kwakuweerezebwa butereevu ku mikutu gya ttivvi n’egya leediyo.

W’osomera bino, nga ttiimu ya bannamawukire baffe baatuuse dda mu Lubiri e Mmengo okusobola okutuusa ku bantu ba Ssaabasajja okwogera kw’Empologoma okwesungiddwa ennyo naddala mu kiseera kino ng’Obuganda n’eggwanga lyonna basobeddwa eka ne mu kibira, ku by’ekirwadde kya Kolona ekifuukidde ensi ekyambika. 

Twekobe mu Lubiri, Kabaka w’agenda okwogerera

Maasomoogi mu by’asuubirwa okwogerako leero, ensonga ya Kolona eri ku mwanjo nnyo.

Asuubirwa okulagira abantu be ku ngeri y’okulwanyisaamu ekirwadde kya Kolona, okwekuuma nga bayonjo, okussa mu nkola ebiragiro bya Gavumenti eya wakati mu kwetangira ekirwadde kya Covid 19, okubeera obumu n’okuyambagana mu kiseera kino.

Kabaka ennaku ezo eyawaddeyo loole y’akawunga ennamba n’obukadde 100 obw’ensimbi eri gavumenti eya wakati okuwa abantu be emmere n’ebyetaago ebirala mu kiseera kino nga bali waka, yatongozebwa dda ekitongole ky’ensi yonna okukulemberamu omumuli gw’okulwanyisa ekirwadde kya mukenenya. 

Kabaka musaale mu kujjukiza abantu be okwekuuma n’okwekebeza era abo abazuuliddwa, banywe eddagala eriweweeza ku kirwadde kino.

Nnyinimu, olwaleero asuubirwa okukkaatiriza ensonga y’abantu be okwekuuma nga balamu.

OBUBAKA BW’AMAZUUKIRA GA KRISTO

Enkya nga 12/04/2021 ge mazuukira ga mukama waffe Yesu Kristo. 

Wegatuukidde, ng’amasinzizo gonna mu ggwanga galiko kkufulu oluvannyuma lwa Pulezidenti okuwera ebifo byonna ebikunganirwamu abantu okutuusa ng’ekirwadde kya Kolona kituuliddwa ku nfeete. 

Museveni okuwera amasinzizo,  Ssaabasajja ye yali asoosekuyimiriza emikolo ý gyonna okumala ekiseera.

Olwaleero, Kabaka asuubirwa okuwa Obuganda obubaka bw’amazuukira ga Kristo.

AMAZAALIBWA GA KABAKA

Ku bbalaza nga 13/04/2020, ge mazaalibwa ga Bbaffe ag’emyaka 65. 

Omukolo guno ogusomboola Obuganda buli mwaka gy’egimu kw’egyo egyayimirizibwa Ssaabasajja olw’ekirwadde kya Kolona. 

Soma wano: https://www.newseditor.co.ug/2020/03/19/kolona-abizadde-kabaka-ayimirizza-emisinde-gyamazaalibwa-ge-nemikolo-gyobwakabala-emirala-21/

Gino bulijjo gitandika n’emisinde gi mubunabyalo era ng’omusimbi oguvaamu, Kabaka yasiima guweebwe gavumenti mu kujjanjaba ebirwadde nga ekya Nalubuli, n’ebirala.  N’emisinde ku luno si gyakubeerayo.

Kabaka tasuubirwa kwogera ku mikolo gino, kyokka yaaliraga Obuganda biki ebikoseddwa mu mbeera ekirwadde kino gyekitaddewo. Ebisinga,  tubirinde. 

Awangaale nnyo Kabaka waffe

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here