HUSSEIN KYANJO: M7 GGYA EBY’OBUFUZI BYA NRM MU KWOGERA KWO KU BY’EKIRWADDE KYA KOLONA

0
488

Bya Musasi waffe

PULEZIDENTI Museveni olwaleero ekiro wa kwogerako eri eggwanga omulundi ogw’okutaano mu nnaku musanvu zokka ku by’ekirwadde kya Kolona zzisamawanga, wabula Hon. Hussein Kyanjo amugambye yeewale okuyingiza eby’obufuzi bya NRM mu kwogerakwe. 

Haji Kyanjo okuva mu kibiina ky’ebyobufuzi ekya Justice Forum nga yaliko omubaka wa Makindye West agambye banne ku ludda oluvuganya gavumenti okuyimirira emabega wa Pulezidenti Museveni mu kutaasa eggwanga kyokka naye n’amusaba, yewale nnyo okukuutiriza NRM ye akadingidi.

Mu kiwandiiko ky’atadde ku mukutu gwa ‘Buganda Think Tank’ ng’ebula ssaawa busaawa Pulezidenti ategeeze eggwanga ebisalidwawo oukiiko lwe ne baminisita, Kyanjo agambye eggwanga lyetaaga okwogeza eddoboozi limu mu kaseera kano naye nga teririimu busosoze mu byabufuzi.

Agambye, “Nga bwemukimanyi, tuwangaalidde nnyo mu nkalu z’ebyobufuzi era si zaakuggwa nkya. Tewali kuffe amanyi ddi na ngeri ki ekirwadde kya Kolona gyekinaamalibwawo. N’olwekyo kyetaagisa okulwana n’eddoboozi limu nga n’ekkubo erisinga obulungi kwe kwesiga gavumenti naddala plezidenti Museveni.”

Agambye banne bwe bali ku ludda oluvuganya gavumenti nti bateekwa okuwuliriza n’obukkakamu amakubo g’abakugu mu by’obulamu n’ebyenfuna ko n’ebiragiro bya pulezidenti. 

“Buno obudde si bwa kuteeba ggoolo za byabufuzi era nsuubira teri kibiina oba kibinja kya byabufuzi kiggya kwewana na buzira singa tunaaba ffenna tuwangudde.” Kyanjo bw’agambye.

Ategeezezza nti, “Buli omu muffe ng’alina abamuwuliriramu ka babe ba mu makaage ateekwa okubakubiriza babeere mabega wa pulezidenti Museveni. Njogera kino kubanga ndowoza nti emirundi mitono pulezidenti lw’akoze mu bwesimbu nga ku mulundi guno.”

Wabula agambye, mu ngeri endala kisoboka gavumenti ne pulezidenti okukola ensobi mu nteekaateeka z’olutalo ku kirwadde kya Kolona nga na bwekityo betaaga okuwabulwa. 

Kyanjo agambye, abawabuzi bateekwa kino okukikola n’obukkakkamu wamu n’obwesiimbu. 

Ku kya Pulezideti obutatabika byabufuzi bya kibiina kye ekya NRM mu lutalo eggwanga lyerulimu, Haji Kyanjo agambye, “Pulezidenti n’abakugu baffe basaana okwewala okuyisaamu eddoboozi lya NRM/NRA kuba kino kyaliggya eggwanga ku mulamwa. Kyokka n’abamu muffe twewale okufuula olutalo luno eddoboozi ly’abavuganya gavumenti.”

Ayogedde ku bikumi n’ebikumi by’abantu abafa mu mawanga okuli Italy ne Spain ky’agamba nti walibaawo ensobi ezaakolebwa mu ntandikwa naye ku sawa eno teri anenya munne kisusse okuggyako okuwabuligana.

“Pulezidenti n’abamu ku ffe ababadde bajjanjabirwa ebweru w’eggwanga tetukyasobola kugendayo. Kati no, Pulezidenti nga ye mugoba w’ekidduka kyaffe, mbasaba tetumutaataaganya kuba kiyinza okutuviirako akabenje ddekabusa.” Kyanjo amaze ebbanga nga mukosefukosefu, bw’ategeezza.

Agambye, “Nga gwe mulundi ogusoose mu byasa, Kaaba e Makka n’omuzikiti gwa Nabbi e Madiina okuba emiggale eri enkuyanja y’abantu ssaako Eklezia enkulu St. Peters nkalu n’amakanisa, na bwekityo toyinza kubuuza ate lwaki wano amasinzizo gaggalwa. Ffenna obwesige bwaffe buli eri Mukama.”

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here