Bya Musasi waffe
OMUGENZI Dr. Simon Muwanga Sseguya Kagugube, abadde Ssenkulu wa Centenary Bank eyafudde ku Lwomukaaga atenderezeddwa nnyo olw’obukozi bwe, obuwulize n’okwagala ekika kye eky’Engabi ng’Obwakabaka butegeezezza nga bwebumusaaliddwa ennyo!
Bino bibadde mu bubaka bwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’atisse omumyuka we asooka era Minisita w’enzirukanya y’emirimu n’obuyiiya, Oweek. Haji Pulof. Twaha Kigongo Kawaase mu kusaba okubadde mu Kelezia ya St. Charles Lwanga e Ntinda olwaleero.
Katikkiro atenderezza Dr. Kagugube olw’okubeera n’ekitone eky’omuntu w’abantu atasosola ate assaamu abalala ekitiibwa.
Kamalabyonna asaasidde nnyo Jjajja Nsamba ow’ekika ky’Engabi olw’okuviibwako Omuzzukulu abadde akolerera Ekika kye awatali kwerekeramu.
Okusabira Omugenzi kwetabiddwamu abebitiibwa ab’enjawulo omubadde Oweek. Joseph Mulwanyammuli Katikkiro wa Buganda eyawummula, omuwi w’amageezi Omukulu mu Lubiri era Ssenkulu wa Equity Bank Oweek. Apollo Nelson Makubuya, Ba Nalinnya Sarah Kagere ne Margret Sseganga, eyaliko omumyuuka wa Ssenkulu wa ssettendekero wa Makerere Pulof. John Ddumba Ssentamu n’abakozi b’ebitongole Dr. Kagugube gyabadde aweerereza, bakwetabyemu.
Okusaba kukulembeddwamu Omusumba w’Essaza lye Kasana Luweero Paulo Ssemwogerere ng’atenderezza nnyo emirimu Kagugube gyakoledde Ekelezia naddala mu kuzimba ekizimbe kya Mapeera, amaka amakulu aga Centenary Bank.