OBUNKENKE: Uganda ne Rwanda ziyiye amagye ku nsalo e Katuna nga Museveni ne Kagame bagasimbagana

0
439

Bya Musasi waffe

EKIRI ku bbooda ya Uganda ne Rwanda ky’amagye agaasuze gayiibwa ng’agamba geetegekera lutalo, gonna gabagalidde eby’okulwanyisa zzisabyalo e Katuna bapulezidenti Yoweri Museveni owa Uganda ne Paulo Kagame owa Rwanda gyebagasimbaganidde.  

Museveni ne Kagame bagasimbanye

Charles Lwanga, omu ku basajja ba Museveni abali ku lusegere awandiise ku mukutu ogumu n’agamba, “Eby’okwerinda bya Pulezidenti waffe binywezeddwa ng’asisinkana Pulezidenti Kagame wano e Katuna”     

Obutakkaanya obwabalukawo wakati w’amawanga  abiri, Rwanda n’etuuka n’okuggala bbooda yaayo bwebuvuddeko akafubo kano okulaba nga bumalibwawo, kuba Uganda ne Rwanda baana baaluganda.   

Rwanda ezze ekissa ku Uganda nti evujjirira abayeekera abaagala okusuula gavumenti ya Kagame era nti esussizza okukwata Abanyarwanda n’ebaggulako ebisangosango.Bino Uganda tebikkiriza, ekiyitakugisibako matu ga mbuzi nga banoonya okugiriisa engo.  

Amaloboozi mu Uganda gakiteeka ku Rwanda okusinkanga bambega bagikette.

Wano wewasibuka obutakkaanya era ng’abakulu bombi basuubirwa okubugonjoola ne wankubadde bagezaako  dda mu ggwanga lya Angola, ne bitakola.

BULI OMU AGENZE  ATYA MUNNE?          

Pulezidenti Museveni alabiddwako nga yeekapise akakooti munda mu ssuuti akatayitamu masasi nga bakkomando abamukuuma batemya bukofu, emikono tegiva ku masuuti gaabwe mwebakukulidde zi bbaasitoola eziwandula amasasi nga wewabeererawo ensobi yonna, omuliro gwaka. 

Ye Pulezidenti Kagame azze ayambade kisaazisaazi ng’abamanyi Genero ono mutaseka bagamba, bbaasitoola tetera kumuva mu kiwato era nga wa abadde waabaddewo abamweyimbamu, ekyaasi kikaaba. 

Mu bumpimpi, akafubo abakulu bano kebagenzeemu buli omu yeekengera munne nga ku bbooda e Katuna,  emmundu zi lugogoma ziweddeyo.

ABA NRM BEEYIYE NGUUDO

Pulezidenti bw’abadde agenda e Katuna,  abawagizi ba NRM beeyiye ku nguudo okumulaga obuwagizi n’okumwagaliza enteseganya ne Kagame ennungi. 

Bakira bamuyimbira ennyimba ezimuwaana, okukuba enduulu ey’oluleekereeke n’okumukubira ka jjambo eno abalala nga bwebawuuba ffulaaga ya Uganda.

Wadde obwedda amagye gabasindiikiriza olw’obwerinde obuli mu kitundu kyeyo, tekibalobedde kulaga Muzeeyi ssanyu era yalabiddwako ng’am wen amwenyamu n’okubakubira kajjambo. 

EBIRI MU KAFUBO  

Abakulu bombiriri olutuuse, beekutte mu ngalo nga bebuzaako era Kagame n’assaako akaseko. Oluvannyuma beesozze akafubo nga byonna ebinakavaamu,  tubireeta wano.   

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here