GOLOLA: Nkoye obuwuulu mpasa mwaka guno

0
185

Bya Molly Nalule

OMUKUBI w’ensambaggere ow’erinnya Moses Golola bulijjo gwebayeeya okutomerwa endiga kyaddaaki avuddemu omwasi ku ky’okukomya okugwa mu masiga ng’atokosa ebipipa by’obuugi by’awuuta, atandise okusonda  ssente z’embaga, mwebale kusaba omukazi amufunye!

BINO BYA KIWAANI: Golola ku mbaga

Agambye enju aba kkampuni ya Riham efulumya Roko Boom gyebamuzimbidde  yetaagamu mufumbi wa ttooke era wakumweyiwamu mwaka guno, mumusondereko akole embaga enamenya n’emiti!

“Bannaaye biri byemwandabye n’omuyimbi nga tukoze embaga byabadde byakiwaani. Twabadde tukwata vidiyo ya luyimba naye ebya ddala bya mwaka guno, omukazi mufunye mumpe ssente mpase.” Golola nga kati agenda mu myaka 40, bweyategeezezza.

Golola yateeka ettutumu mu muzannyo gw’ensambaggere era lweyagwanjula wano mu ggwanga mu 2011amale aggunde Abdul Qadir Rahim, nnamungi w’omuntu atalabwangako okuleka mu mipiira ogwa Uganda Cranes n’ogwa Masaza yagwetabamu.

Okuva olwo, yafuuka wa ttuunzi era nga muganzi nnyo, kyokka banne buli lwebamubuuza ku by’omukyala, atunula eri ne batuuka n’okutya nti taba nga yatomerwa endiga.

Kati no abasirisizza, 2021 agambye a guy I aguyingira na mugole. 


LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here