NEWS EDITOR MEDIA
MUNNA FDC Yusuf Nsibambi, omubaka wa Mawokota South, ekirwadde ekirudde nga kimubala embirizi kirabika kyongedde okumunafuyiza ddala!
Woosomera bino ng’embeera gy’alimu, yeeraliikirizza aba famire ye, nga kati tebamanyi oba ne kkampeyini z’obwa MP bwa Mawakota South anaazisobola era waliwo n’abamulagidde edda eby’obufuzi bya kaweereege asooke abiveemu, balabe bwe bataase obulamu kuba buli lunaku olukya, embeera ye eyongera kuba bubi.

Ekif. Dr. Besigye lweyakyalira Nsibambi mu ddwaliro nga bamulongoosezza
Twogeddeko n’omu ku bantu be abokulusegere ennyo atusabye obutamwatuukiriza mannya, n’atugamba Nsibambi muyi, yetaaga ssaala!
Atugambye, “Ekituufu kiri nti, Hon. Nsibambi muyi. Ebyo bye mwamulabye mu kagaali ng’azze okwewandiisa teyabadde mu bubadi bwa bannabyabufuzi abamu, omubaka yetaaga dduwa obulamu bugenda!”
Hon. Nsibambi nga ye mubaka wa FDC yekka mu Buganda ataayabulira kibiina kye kwegatta ku PFF ya Dr. Besigye, azze alwana n’obulamu nga bwamutusaako ne mu ddwaliro gye bamulongooseza omutima ng’okuva olwo, obulamu bwe si bwe bubadde bweyagaza, okutuusa wano jjuuzi, n’agatambula bwe gaamubuze ne batandika kumutambuliza ku kagaali.
Wiiki ewedde bweyazze okwewandiisa okuddamu okuvuganya ku bubaka bwa Palamenti, Nsibambi bamuleetedde mu Ambulence era nga gwe basembyeyo okuwandiisa, ab’akakiiko k’ebyokulonda ne baggalawo.
EBIRAGA NTI NSIBAMBI MUYI
Olwatuusiddwa ku maka g’akakiiko k’ebyokulonda amapya mu disitulikiti y’e Mpigi agasangibwa wali e Kyansanku mu Town council y’e Mpigi, okuliraanira ddala awali ofiisi kya NIRA e Mpigi, abasawo abatakyava ku Nsibambi, kyabatwalidde kumpi eddakiika kkumi okumuggya ku katanda, bamusse ku kagaali okutambuzibwa abatakyeyinza.
Bakira Nsibambi yenna akekejjana nga bw’asinda obulumi, ng’alaga assiza kumukumu nga n’olumu omukka abaka mubake ng’era omuyi yenna bw’aba.
Olwayingiziddwa mu nda mu kakiiko k’ebyokulonda, abakulu basazeewo okussaamu obwangu era obutaba ng’abalala, ye tebamwetoolozza, ne bamukolako mu bwangu obw’ekitalo era ne bamuta, ng’omusajja ali bubi.
Bannamawulire olwafunye akakisa okumubuuza ekyamutuseeko, Nsibambi ndowooza obutaagala kutiisa balonzi be, yagambye mbu yagwa ku kabenje, kwekutambulira mu kagaali, kyokka ng’abamumanyi obulungi bagamba, waliwo ekimbe ekikambwe ekirudde nga kimubala embiriizi nga kirabika, ku luno kyazze gawanye.
ALEMERERWA OKWOGERA ERI ABAWAGIZI BE
Nsibambi ng’avudde e Mpigi mu kwewandiisa, yatambulidde mu Ambulence ng’abasawo bamwetoolodde, okutuuka e Kayabwe ku kafene, awaategekeddwa olukungana lwe.
Eno yatuseeyo ng’essaawa ziri eyo mu kkumi era bezoobye n’okumwambusa ku kadaala lwakiri awuubire ku bawagizi ba FDC.Olwamuwadde akazindaalo, ebyokwogera byamubuze, nga yenna akema ng’ataasulewo, nga by’ayogera wammanta biwammante!
AKOZE EKIRAAMO
Nsibambi eyawulikise ng’eyabadde akola ekiraamo, mu budakiika obutono bweyayogeredde eri abawagizi be, yagambye ye akooye entalo, kati ayagala mirembe mu Mawokota, n’akubiriza abantu be okukuuma emirembe akalulu tekateekeddwa kuba kaakufa na kuwona.
Yagambye, wadded abawagizi abalina, kyokka tajja kulwanagana na bamwesimbyeko, nabo abazze bamazeeko nga muwogo, okumusuuza omugaati gwa Palamenti oguwooma okukira okuzaama.
Olwayogedde ebyo, n’awaayo akazindaalo era abasawo ne bamuyoolayoola, ne bamuzzaayo mu Ambulence era n’esimbulirawo.
Kigambibwa, ekiwejjowejjo, Ambulence yasibidde mu ddwaliro ne bamussa ku kitanda gy’ajjabirwa ng’eno taasiibewo taasulewo y’ali ku mimwa.
BANO BEEBASIGADDE KU LUKUNGANA LWE
Nsibambi ekintu ky’e Kayabwe olwakitadde, basajjabe okwabadde omuyambi we Pascal Nsamba, munna FDC Walid Lubega Mulindwa, Auntie Julie eyali omukozi ku radio Buwama ne Agaba naye eyali DJ ku radio Buwama, be baasigadde boogerako eri abantu n’okwaniriza abayimbi okulaba ng’abantu olukungaana tebaludduko.
Naye era ekintu tebaakikwatiridde kaseera kamala, abamu ku bantu baalabiddwa nga batambula bavaawo.
Auntie Julie ayogerwako, muntu nnyo wa Nsibambi ng’era kigambibwa, enkolaganaye ye yamuviirako embeteza eyamugobya ku radio Buwama kweyakoleranga pulogulaamu eyitibwa Ekyombo ne Uncle John.

Ekif. Yusuf Nsibambi (Ekifaananyi kya social media)
Julie yafuna obutakkaanya ne meeya w’e Buwama Town Council ayitibwa Abdulashid Nkinga, bwe batalima kambugu ne Nsibambi.Olwokuba Nkinga y’omu ku banene ba radio Buwama, yakola buli kisoboka okugoba Julie ku bigambibwa nti yali afudde radio akadaala k’okuwaanirako Nsibambi.
ABAAGALA EKIFO KYA NSIBAMBI
Ku bano kuliko Suzan Nakawuki owa NRM ng’ono ne mu kalulu akawedde bwe baavuganya. Ekyewunyisa, Nakawuki ne Nsibambi bakinywi era bonna baaliko mu FDC.

Ekif. Katikkiro Mayiga ng’asesa Hon. Lubyayi enseko. Baabadde mu Bulange
Ku balala abatunuuliddwa okulivvula Nsibambi, kuliko Hon. John Bosco Lubyayi Sseguya, eyaliko omubaka w’ekitundu kino, ng’ono yazze nga wa independent. Bakafulu ababala eby’obufuzi mu Mawokota South bagamba, kyaliba ekizibu Nsibambi okusimattuka Lubyayi, ne bw’anagenda ku muganga.

Ekif. Olukungaana Lubyayi lwe yakubye nga yakewandiisa. Lwabadde Buwama
Munna NUP Martin Ssejjemba, ono nga ye ssentebe wa disitulikiti y’e Mpigi, ekibiina kye gwekyawadde tikiti, kyokka ono musajja wattu yetaaga ssaala kuba emisango gy’enguzi egyamukwasa ennaku ezo, n’aggalirwa, gyamuzza nnyo emabega.

Ekif. Martin Ssejjemba owa NUP
Omulala ye Kato Lubega Joseph agamba nti musuubuzi, ng’azaalibwa Jaramba mu Mpigi. Ono, kigambibwa nti yaleeteddwa Kaweesi Sulaiman ssentebe wa NRM mu Mpigi nga bayagadde gwe baba bawa akabonero Lubyayi keyabadde yesoose ak’omupiira, mu ngeri y’okubuzaabuza abawagizi ba Lubyayi.
Era musajja wattu, yamalirizza ng’atutte kabonero ka nnyumba.
Ebisinga ku ggulire lino, birinde mu kitundu kyaffe eky’okubiri.
Olina eggulire lyonna lyoyagala lifulume? Wandiikira omukunganya ku newseditor.info@gmail.com
