KOLONA ABIZADDE: KABAKA AYIMIRIZZA EMISINDE GY’AMAZAALIBWA GE N’EMIKOLO GY’OBWAKABAKA EMIRALA 21

0
150

Bya Emma Mugejjera

SSAABASAJJA Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okuyimiriza emisinde gy’amazaalibwa ge gi mubunabyaalo egibadde egyokubeerawo omwezi ogujja nga 05/04/2020 ng’entabwe evudde ku kulanda kw’ekirwadde kya Kolona ekyafukamizza ensi yonna!

Wabula Katikkiro ategeezezza nti amakakkalabizo g’Obwakabaka gaggya kugenda mu maaso n’okuweereza abantu.

Bino webiggyidde, nga Pulezidenti Museveni y’akaggala amasomero 5000 n’alagira abayizi abali eyo mu bukadde 15 okudda ewaabwe, amasinzizzo gaggaddwa, ebinywero n’ebifo ebisanyukirwamu byonna ne biwerebwa ssaako enkungana z’ebyobufuzi, embaga n’okuziika okuliko abantu abangi.

Okusinziira ku kiwandiiko ekifulumiziddwa olwaleero ne kissibwako omukono gwa Mukuumaddamula Charles Peter Mayiga (CPM), emikolo gy’Obwakaba gyonna awamu 22 giyimiriziddwa okutuusa ng’embeera eteredde.

EMIKOLO GY’OBWAKABAKA EGIYIMIRIZIDDWA GIIGINO

  1. Okulambula kwa Ssaabasajja e Kakuuto n’e Mutukula nga 19- 20/03/2020
  2. Emizannyo gy’abaana mu Lubiri e Mmengo nga 20/03/2020
  3. Olukiiko lwa Buganda nga 23/03/2020
  4. Okusisinkana ba Ssentebe ba disitulikiti za Buganda nga 24/03/2020
  5. Olukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’amazzi n’obutonde bw’ensi e Ntebe nga 24/03/2020
  6. Enkyuukakyuuka mu lutuula lwa kabineeti olwa nga 26/03/2020. Luno lujja kugenda mu maaso naye ku nkola ey’olukomo emanyiddwa nga ‘Teleconference’ oba ‘Zoom conference’ oba okutuula okutuula nga twewadde amabanga ga mita nnamba.
  7. Okutongoza ekitongole ekirabirira ebisolo n’ebinyonyi e Nabweru nga 27/03/2020
  8. Empaka za Volleyball nga 27/03/2020
  9. Embaga y’Omw. Mugwanya Kagombe e Masaka nga 28/03/2020 Katikkiro tajja kugyetabako
  10. Okutongoza kaweefube wa Mwanyi terimba, olunaku lw’ettaka, obwegassi n’obutonde bw’ensi e Busujju nga 31/03/2020
  11. Empaka za Squash nga 02/04/2020
  12. Emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka nga 05/04/2020
  13. Olukiiko lw’abamagombolola n’abaminisita nga 07/04/2020
  14. Olukiiko lwa kabineeti nga nalwo lujja kuba lwa ku lukomo nga 09/04/2020
  15. Mmisa y’amazaalibwa ga Kabaka e Lubaga nga 13/04/2020
  16. Okuggulawo awamu n’okuggalawo omwoleso gwa PEWOSA okuva nga 07 – 14/04/2020
  17. Okutongoza olukiiko lw’Amatikkira 2020. Kuno kujja nakwo kukolebwa ku lukomo olwayitiddwa Teleconference nga 16/04/2020
  18. Olusirika lw’Olukiiko lwa Buganda e Masaka nga 16/04/2020
  19. Olutuula lwa Kabineeti lujja kukolebwa ku lukomo lwa ssimu nga 23/04/2020
  20. Okulambula abavubuka e Kabaale – Kigezi nga 25/04/2020
  21. Olumbe lw’omugenzi John Luswata taata wa Nabagereka nga 25/04/2020
  22. Okutongoza emipiira gy’ebika nga 30/04/2020

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here