BATTUNSE: Basatu bayiseemu okukiikirira Uganda mu z’Afrika mu kusoma Kkulaani e Garbon

0
259

Bya Waswa Tenywa

ABAYIZI abasoba mu 100 okuva mu masomero g’Obusiraamu ku Lwokutaana battunkidde ku kitebe kya Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) e Kampala mukadde, mu mpaka z’okusoma kkulaani okukkakkana nga ku bano, basatu be bayise mu kasengejja okukiikirira Uganda mu z’akamalirizo ezinaabeera mu kibuga Libreville eky’eggwanga lya Garbon nga 20/04/2020.

Abaalidde empanga kuliko; Sulaiman Sudaisi, Habib Wafula ne Bashir Abubaker.

Omukolo gw’okulangirira abawanguzi gwetabiddwako Mufti wa Uganda Sheikh Shaban Ramathan Mubajje eyasiimye ennyo Kabaka w’e Morocco, King Muhammed VI olw’okutandikawo enkola y’okuzza amaanyi mu bayizi abasoma Kkulaani mu Uganda nga ayitira mu kibiina kya Muhammed VI Foundation. 

Mubajje yagambye, “Ng’Abasiraamu ba Uganda, tuli basanyufu era twebaza Kabaka wa Morocco eyatandikawo enteekateeka y’okulaba ng’abayizi baffe bajjumbira okumanya n’okuyiga ekitaboekitukuvu Quran.”

Mufti Mubajje asabye Abasiraamu okukomya okutyoboola bamaseeka n’agamba nti kino kyekimu ku bivuddeko obutabanguko n’okulwanagana.

Mufti era asabye Abasiraamu okwewala ennyo okuyisa amateeka (Fatuwa) ku byebatamanyi nga baagala Abasiraamu bagagoberere kyeyagambye nti bangi bakozesa emitimbagano okusasaanya amawulire agobulimba ku biteekateeka nga bino.

“Ekiddiridde, kwekugwangana mu malaka, empalana mu Basiraamu ezitaggwa. ” Mufti Mubajje bweyategeezezza ku mukolo ogwabaddebadde mu kisenge ekituulamu enkiiko ku muzikiti gwa Gadaffi National Mosque. 

Sheikh Hatwib Mukuluwakika akulira ekitongole kya Daawa ku Uganda muslim supreme council yasabye abayizi abaakutte Quran okufaayo enyo okugikuuma.

Dr. Ibrahim Ssali, pulezidenti w’ekibiina kya Muhammad VI Foundation mu Uganda yagambye empaka z’okutegeka Quran Dr.Ibrahim ssali ategezeza nti enteekateeka z’okusoma Quran zatandika mwaka guwedde mu mawanga ag’enjawulo agabadde mu kibiina kino kyokka nga mu Uganda zezisookedde ddala olw’okuba yo yakegatta ku kibiina kino.

LEAVE A REPLY

Please enter your comment!
Please enter your name here