OLUTALO KU KOLONA Archives | News Editor https://www.newseditor.co.ug/category/olutalo-ku-kolona/ "Nothing but the Truth" Fri, 01 May 2020 07:51:12 +0000 en-US hourly 1 https://wordpress.org/?v=6.4.4 https://www.newseditor.co.ug/wp-content/uploads/2019/11/cropped-Untitled-2-1-32x32.jpg OLUTALO KU KOLONA Archives | News Editor https://www.newseditor.co.ug/category/olutalo-ku-kolona/ 32 32 TEBAGIKWATAKO! Gavumenti epangisizza Bad Black akuyege bamalaaya ku nsalo e Malaba n’e Mutukula okwewala badereeva ba ttuleera olwa Kolona https://www.newseditor.co.ug/2020/05/tebagikwatako-gavumenti-epangisizza-bad-black-akuyege-bamalaaya-ku-nsalo-e-malaba-ne-mutukula-okwewala-badereeva-ba-ttuleera-olwa-kolona/ https://www.newseditor.co.ug/2020/05/tebagikwatako-gavumenti-epangisizza-bad-black-akuyege-bamalaaya-ku-nsalo-e-malaba-ne-mutukula-okwewala-badereeva-ba-ttuleera-olwa-kolona/#respond Fri, 01 May 2020 07:48:57 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=2174 Bya Emma Mugejjera NEWS EDITOR GAVUMENTI ng’eyitira mu minisitule y’ebyobulamu etumye mwanamuwala Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black mu bamalaaya bo ku nsalo ya Uganda n’e Kenya e Malaba ssaako e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania, abakuyege beewale bakasitoma baabwe abavuga zi ttuleera olw’ekirwadde kya Kolona.  Bad Black amanyiddwa ennyo mu bintu bino, waggyidde […]

The post TEBAGIKWATAKO! Gavumenti epangisizza Bad Black akuyege bamalaaya ku nsalo e Malaba n’e Mutukula okwewala badereeva ba ttuleera olwa Kolona appeared first on News Editor.

]]>
Bya Emma Mugejjera 
NEWS EDITOR

GAVUMENTI ng’eyitira mu minisitule y’ebyobulamu etumye mwanamuwala Shanitah Namuyimbwa amanyiddwa nga Bad Black mu bamalaaya bo ku nsalo ya Uganda n’e Kenya e Malaba ssaako e Mutukula ku nsalo ya Uganda ne Tanzania, abakuyege beewale bakasitoma baabwe abavuga zi ttuleera olw’ekirwadde kya Kolona. 

Bad Black akulembeddemu kkampeyini okulemeza baddereeva ba zi ttuleera ‘Okugikwatako’

Bad Black amanyiddwa ennyo mu bintu bino, waggyidde akome ku banneekoleragyange nga Pulezidenti Museveni yakavaayo n’alagira abaana ab’obuwala bano obutaddamu kukkiriza baddereeva ba ttuleera ‘Okugikwatako’ okwewala okusaasanya ekirwadde kya Kolona.
Museveni yasinzidde ku muwendo gwa baddereeva ba ttuleera abalina ekirwadde kya Kolona okulinnya, n’alaga okutya nti baalikisasaanyiza ennyo mu baana ab’obuwala bebakwatako mu bubuga obuli ku nsalo ng’e Busia, n’eyo gye bajja bayitira. 
Mu kwogerakwe eri eggwanga ku Lwokubiri, Pulezidenti yalagidde bekikwatako mu gavumenti okutwalira abakyala bano obuyambi mu kiseera kino, kibasobozese obutajulirira baddereeva ba ttuleera abeegulidde erinnya mu kuyingiza wano ekirwadde kya Kolona. 
Mu kalango ka Bad Black aba Minisitule y’ebyobulamu ke baatadde ku mikutu egy’enjawulo agambye, “Abaana ab’obuwala naddala abali ku nsalo za Uganda n’amawanga agatwetoolodde, mbasaba okwesonyiwa baddereeva b’emmotoka za ttuleera ne bi loole mu kiseera kino nga tuli mu kulwanyisa ekirwadde kya Kolona ekitadde amawanga gonna ku bunkenke.”
“Mbasaba obutakkirizza baddereeva bano kubakwatako yadde okubasemberera. Mbakubiriza okugobeera ebiragiro by’abasawo n’okulungamizibwa kw’omukulembeze w’eggwanga.” Bad Black bw’agamba m kalango ke.
Ategeezezza banne nti, “Singa tunaakola ekyo, ekirwadde tujja kukiwangula nga Mukama ye mubeezi waffe. Jjukira obulamu bw’ebugagga.”

The post TEBAGIKWATAKO! Gavumenti epangisizza Bad Black akuyege bamalaaya ku nsalo e Malaba n’e Mutukula okwewala badereeva ba ttuleera olwa Kolona appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2020/05/tebagikwatako-gavumenti-epangisizza-bad-black-akuyege-bamalaaya-ku-nsalo-e-malaba-ne-mutukula-okwewala-badereeva-ba-ttuleera-olwa-kolona/feed/ 0
BAWEZE 23: EKIRWADDE KYA KOLONA KY’ONGEDDE OKUTAAMA MU UGANDA, OMUWENDO GULINNYE https://www.newseditor.co.ug/2020/03/baweze-23-ekirwadde-kya-kolona-kyongedde-okutaama-mu-uganda-omuwendo-gwongedde-okulinnya/ https://www.newseditor.co.ug/2020/03/baweze-23-ekirwadde-kya-kolona-kyongedde-okutaama-mu-uganda-omuwendo-gwongedde-okulinnya/#respond Fri, 27 Mar 2020 21:26:41 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=1677 Bya Emma Mugejjera OBUDDE bugayeggaye, ekirwadde kya Kolona kyongedde okutaama, mu lunaku lumu abantu abalala mwenda bakakasiddwa nti kyabayodde nga kati omuwendo guli 23!  Okusinziira ku bifulumiziddwa aba minisitule y’eby’obulamu mu kiro ekikeesezza Olwomukaaga, abantu bataano kati bagattiddwa ku balala 18 abasoose okukakaasibwa nti balwadde ba Kolona. Abakulu mu minisitule bagambye,  “Abantu bataano bakakasiddwa nti […]

The post BAWEZE 23: EKIRWADDE KYA KOLONA KY’ONGEDDE OKUTAAMA MU UGANDA, OMUWENDO GULINNYE appeared first on News Editor.

]]>
Bya Emma Mugejjera

OBUDDE bugayeggaye, ekirwadde kya Kolona kyongedde okutaama, mu lunaku lumu abantu abalala mwenda bakakasiddwa nti kyabayodde nga kati omuwendo guli 23! 

Okusinziira ku bifulumiziddwa aba minisitule y’eby’obulamu mu kiro ekikeesezza Olwomukaaga, abantu bataano kati bagattiddwa ku balala 18 abasoose okukakaasibwa nti balwadde ba Kolona.

Abakulu mu minisitule bagambye,  “Abantu bataano bakakasiddwa nti balina Kolona nga kati omuwendo bali 23 mu Uganda. Ku bantu 227 abakebeddwa leero, 222 balamu, bataano ekirwadde kibayodde. Tujja kwongera okubategeeza byonna mu bujjuvu.”

Pulezidenti Museveni yasoose kutezeeza ggwanga ng’abantu abaakebeddwa mu nnaku ebbiri e mabega abali eyo mu 301, bana bokka be baabadde basangiddwa n’ekirwadde, ye kye yayise amawulire     ag’essanyu. 

Muzeeyi yagambye,  n’abalwadde bakubye ku matu.

Wabula ate amawulire g’abalwadde okweyongera, kireseewo okutya okw’amaanyi. 

The post BAWEZE 23: EKIRWADDE KYA KOLONA KY’ONGEDDE OKUTAAMA MU UGANDA, OMUWENDO GULINNYE appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2020/03/baweze-23-ekirwadde-kya-kolona-kyongedde-okutaama-mu-uganda-omuwendo-gwongedde-okulinnya/feed/ 0
HUSSEIN KYANJO: M7 GGYA EBY’OBUFUZI BYA NRM MU KWOGERA KWO KU BY’EKIRWADDE KYA KOLONA https://www.newseditor.co.ug/2020/03/hussein-kyanjo-m7-ggya-ebyobufuzi-bya-nrm-mu-kwogera-kwo-ku-byekirwadde-kya-kolona/ https://www.newseditor.co.ug/2020/03/hussein-kyanjo-m7-ggya-ebyobufuzi-bya-nrm-mu-kwogera-kwo-ku-byekirwadde-kya-kolona/#respond Wed, 25 Mar 2020 15:56:48 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=1627 Bya Musasi waffe PULEZIDENTI Museveni olwaleero ekiro wa kwogerako eri eggwanga omulundi ogw’okutaano mu nnaku musanvu zokka ku by’ekirwadde kya Kolona zzisamawanga, wabula Hon. Hussein Kyanjo amugambye yeewale okuyingiza eby’obufuzi bya NRM mu kwogerakwe.  Haji Kyanjo okuva mu kibiina ky’ebyobufuzi ekya Justice Forum nga yaliko omubaka wa Makindye West agambye banne ku ludda oluvuganya gavumenti […]

The post HUSSEIN KYANJO: M7 GGYA EBY’OBUFUZI BYA NRM MU KWOGERA KWO KU BY’EKIRWADDE KYA KOLONA appeared first on News Editor.

]]>
Bya Musasi waffe

PULEZIDENTI Museveni olwaleero ekiro wa kwogerako eri eggwanga omulundi ogw’okutaano mu nnaku musanvu zokka ku by’ekirwadde kya Kolona zzisamawanga, wabula Hon. Hussein Kyanjo amugambye yeewale okuyingiza eby’obufuzi bya NRM mu kwogerakwe. 

Haji Kyanjo okuva mu kibiina ky’ebyobufuzi ekya Justice Forum nga yaliko omubaka wa Makindye West agambye banne ku ludda oluvuganya gavumenti okuyimirira emabega wa Pulezidenti Museveni mu kutaasa eggwanga kyokka naye n’amusaba, yewale nnyo okukuutiriza NRM ye akadingidi.

Mu kiwandiiko ky’atadde ku mukutu gwa ‘Buganda Think Tank’ ng’ebula ssaawa busaawa Pulezidenti ategeeze eggwanga ebisalidwawo oukiiko lwe ne baminisita, Kyanjo agambye eggwanga lyetaaga okwogeza eddoboozi limu mu kaseera kano naye nga teririimu busosoze mu byabufuzi.

Agambye, “Nga bwemukimanyi, tuwangaalidde nnyo mu nkalu z’ebyobufuzi era si zaakuggwa nkya. Tewali kuffe amanyi ddi na ngeri ki ekirwadde kya Kolona gyekinaamalibwawo. N’olwekyo kyetaagisa okulwana n’eddoboozi limu nga n’ekkubo erisinga obulungi kwe kwesiga gavumenti naddala plezidenti Museveni.”

Agambye banne bwe bali ku ludda oluvuganya gavumenti nti bateekwa okuwuliriza n’obukkakamu amakubo g’abakugu mu by’obulamu n’ebyenfuna ko n’ebiragiro bya pulezidenti. 

“Buno obudde si bwa kuteeba ggoolo za byabufuzi era nsuubira teri kibiina oba kibinja kya byabufuzi kiggya kwewana na buzira singa tunaaba ffenna tuwangudde.” Kyanjo bw’agambye.

Ategeezezza nti, “Buli omu muffe ng’alina abamuwuliriramu ka babe ba mu makaage ateekwa okubakubiriza babeere mabega wa pulezidenti Museveni. Njogera kino kubanga ndowoza nti emirundi mitono pulezidenti lw’akoze mu bwesimbu nga ku mulundi guno.”

Wabula agambye, mu ngeri endala kisoboka gavumenti ne pulezidenti okukola ensobi mu nteekaateeka z’olutalo ku kirwadde kya Kolona nga na bwekityo betaaga okuwabulwa. 

Kyanjo agambye, abawabuzi bateekwa kino okukikola n’obukkakkamu wamu n’obwesiimbu. 

Ku kya Pulezideti obutatabika byabufuzi bya kibiina kye ekya NRM mu lutalo eggwanga lyerulimu, Haji Kyanjo agambye, “Pulezidenti n’abakugu baffe basaana okwewala okuyisaamu eddoboozi lya NRM/NRA kuba kino kyaliggya eggwanga ku mulamwa. Kyokka n’abamu muffe twewale okufuula olutalo luno eddoboozi ly’abavuganya gavumenti.”

Ayogedde ku bikumi n’ebikumi by’abantu abafa mu mawanga okuli Italy ne Spain ky’agamba nti walibaawo ensobi ezaakolebwa mu ntandikwa naye ku sawa eno teri anenya munne kisusse okuggyako okuwabuligana.

“Pulezidenti n’abamu ku ffe ababadde bajjanjabirwa ebweru w’eggwanga tetukyasobola kugendayo. Kati no, Pulezidenti nga ye mugoba w’ekidduka kyaffe, mbasaba tetumutaataaganya kuba kiyinza okutuviirako akabenje ddekabusa.” Kyanjo amaze ebbanga nga mukosefukosefu, bw’ategeezza.

Agambye, “Nga gwe mulundi ogusoose mu byasa, Kaaba e Makka n’omuzikiti gwa Nabbi e Madiina okuba emiggale eri enkuyanja y’abantu ssaako Eklezia enkulu St. Peters nkalu n’amakanisa, na bwekityo toyinza kubuuza ate lwaki wano amasinzizo gaggalwa. Ffenna obwesige bwaffe buli eri Mukama.”

The post HUSSEIN KYANJO: M7 GGYA EBY’OBUFUZI BYA NRM MU KWOGERA KWO KU BY’EKIRWADDE KYA KOLONA appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2020/03/hussein-kyanjo-m7-ggya-ebyobufuzi-bya-nrm-mu-kwogera-kwo-ku-byekirwadde-kya-kolona/feed/ 0
BIBI: E BUNGEREZA OMULANGIRA OMUKULU EKIRWADDE KYA KOLONA KIMUYODDE, E UGANDA OMUWENDO GULINNYE https://www.newseditor.co.ug/2020/03/bibi-e-bungereza-omulangira-omukulu-ekirwadde-kya-kolona-kimuyodde-e-uganda-omuwendo-gulinnye/ https://www.newseditor.co.ug/2020/03/bibi-e-bungereza-omulangira-omukulu-ekirwadde-kya-kolona-kimuyodde-e-uganda-omuwendo-gulinnye/#respond Wed, 25 Mar 2020 12:36:33 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=1621 Bya Emma Mugejjera MINISITA omubeezi ow’eby’obulamu mu Uganda Dr. Joyce Moriku Kaducu abadde yakategeeza eggwanga ng’omuwendo gw’abalina ekirwadde kya Kolona bwegulinnye okuva ku bantu 9 okutuuka ku 14 nga ku bapya kuliko ne baby ow’emyezi 8, e Bungereza nayo nevaayo amawulire ag’entiisa!   Omulangira omukulu Charles ow’empaka 71 ekirwadde kya Kolona woosomera bino nga kimaze okumuyoola […]

The post BIBI: E BUNGEREZA OMULANGIRA OMUKULU EKIRWADDE KYA KOLONA KIMUYODDE, E UGANDA OMUWENDO GULINNYE appeared first on News Editor.

]]>
Bya Emma Mugejjera

MINISITA omubeezi ow’eby’obulamu mu Uganda Dr. Joyce Moriku Kaducu abadde yakategeeza eggwanga ng’omuwendo gw’abalina ekirwadde kya Kolona bwegulinnye okuva ku bantu 9 okutuuka ku 14 nga ku bapya kuliko ne baby ow’emyezi 8, e Bungereza nayo nevaayo amawulire ag’entiisa!  

Omulangira omukulu Charles ow’empaka 71 ekirwadde kya Kolona woosomera bino nga kimaze okumuyoola era ye n’omukyala Camilla baggyiddwa awali abantu abalala ne batwalibwa a Balmoral mu Scotland si kulwa nga nabo babasiiga.      

Omwogezi wo mu Lubiri agambye, “Kituufu omulangira Charles akebereddwa era ebyuuma biraga, ekirwadde kya Kolona kimuyodde. Kyokka abasawo bakola buli kisoboka okutaasa obulamu bwe ng’embeera gy’alimu teyeeraliikiriza.”

Wabula amawulire gategeezezza nti ye omukyala Camilla ebyuuma biraze nti talina kirwadde kino.

Ye omwogezi w’Olubiri lwa Nabakyala wa Bungereza oluli e Buckingham agambye, Nabakyala Elizabeth yakoma okulaba ku mutababi we nga 12/03/2020.

“Nabakyala ali mu mbeera nnungu ng’agoberera buli kyamulagiddwa abasawo ku bulamu bwe.” Omwogezi w’Olubiri bw’ategeezezza omukutu gw’amawulire ogwa BBC.

Omulangira Charles yalabiddwako ab’eddwaliro lya NHS Aberdeenshire, ng’eno gyebaakamutemedde.

“Kizibu okumanya ani yasiize Omulangira Charles ekirwadde kya Kolona okusinzira ku nsisinkano ez’enjawulo zeyabadde nazo mu wiiki eziyise.  where they met the criteria required for testing.

Abakozi mu maka g’Omulangira abawerako, nabo balagiddwa obutagezaako kuva  mu maka gaabwe.

Mu ggwanga lya Bungereza, abamaze okufuna ekirwadde kya Kolona bali eyo mu 8000 nga ku bano, 422 kyamaze dda okubaserengesa e Kaganga. 

The post BIBI: E BUNGEREZA OMULANGIRA OMUKULU EKIRWADDE KYA KOLONA KIMUYODDE, E UGANDA OMUWENDO GULINNYE appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2020/03/bibi-e-bungereza-omulangira-omukulu-ekirwadde-kya-kolona-kimuyodde-e-uganda-omuwendo-gulinnye/feed/ 0
OKWOGERAKO KWA M7 LEERO KU ‘KOLONA’: ABABAKA SSEWANYANA NE NSEREKO BAMULAZE EBINTU 6 BY’ATALINA KWERABIRA https://www.newseditor.co.ug/2020/03/okwogerako-kwa-m7-leero-ku-kolona-ababaka-ssewanyana-ne-nsereko-bamulaze-ebintu-6-byatalina-kwerabira/ https://www.newseditor.co.ug/2020/03/okwogerako-kwa-m7-leero-ku-kolona-ababaka-ssewanyana-ne-nsereko-bamulaze-ebintu-6-byatalina-kwerabira/#respond Tue, 24 Mar 2020 10:43:58 +0000 https://www.newseditor.co.ug/?p=1582 Bya Emma Mugejjera EGGWANGA nga lirindirira biki Pulezidenti Museveni by’agenda okwogera leero ng’eno omuwendo gw’abalwadde ba Kolona mu ggwanga gw’ongera kulinnya, ababaka ba Palamenti Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Nsereko owa Kampala Central baagala ayimirize ssente z’obupangisa, okuggyako amasannyalaze n’omusolo gw’amayumba.  Bano betwogeddeko nabo bw’atugambye,  singa leero bino Pulezidenti anaabibuusa  amaaso, ajja kuba […]

The post OKWOGERAKO KWA M7 LEERO KU ‘KOLONA’: ABABAKA SSEWANYANA NE NSEREKO BAMULAZE EBINTU 6 BY’ATALINA KWERABIRA appeared first on News Editor.

]]>
Bya Emma Mugejjera

EGGWANGA nga lirindirira biki Pulezidenti Museveni by’agenda okwogera leero ng’eno omuwendo gw’abalwadde ba Kolona mu ggwanga gw’ongera kulinnya, ababaka ba Palamenti Allan Ssewanyana owa Makindye West ne Muhammad Nsereko owa Kampala Central baagala ayimirize ssente z’obupangisa, okuggyako amasannyalaze n’omusolo gw’amayumba. 

Bano betwogeddeko nabo bw’atugambye,  singa leero bino Pulezidenti anaabibuusa  amaaso, ajja kuba aleseewo omuwaatwa munene nnyo mu kulwanyisa ekirwadde kya Kolona kuba abantu basula ku bwerinde olwa bannyini bizimbe ko n’amayumba mwe basula okwagala ssente z’obupangisa nga bino by’ebimu ku bibagaana okubeera mu maka gaabwe nga omukulu bweyabalagidde, ne badda mu kuguluba nga banoonya ssente.  

Ababaka bano batugambye,  “Pulezidenti ateekwa okuyimiriza amagoba gonna bbanka gezijja ku beziwola okumala emyezi ena. Tumusuubira okuyimiriza ssente z’omulangira lwaki okumala emyezi esatu ng’eggwanga bweryetegereza embeera.”

Hon. Ssewanyana ne Hon. Nsereko baagala era Pulezidenti asooke agyewo omusolo gw’amayumba eggwanga lisooke live mu kaseera aka nawookera wa Kolona.

“Twagala Pulezidenti agira ayimiriza okusasula amazzi n’amasannyalaze, wabeewo ekya gavumenti okugaba emmere eri abo abatalina mwasirizi kuno ssaako n’ebikozesebwa ebirala mu balamu obwabulijjo nga ssabbuuni, omuliro,  sukaali n’amafuta g’ettala.” Ababaka bwebaategeezezza.

Baagala Pulezidenti ayogere ku kya gavumenti ye okugabira buli maka  ebikozesebwa mu kunaaba engalo (sanitizers) n’obugoye obw’okwebikka mu maaso (face masks).

“Tukimanyi nti ebyo byetumenye waggulu basobolera ddala okussibwa mu nkola kubanga minisitule y’ebyensimbi yasabye ennyongereza ya buwumbi 700 okulwanyisa Korona. Ezimu ku ssente ezo zisoboleraddala okukola ku byetwogendeko waggulu awo.” Ababaka bwebagambye ne balabula nti singa bino tebiikolweko, ekirwadde kyaliba ebizibu okutuula ku nfete.   

The post OKWOGERAKO KWA M7 LEERO KU ‘KOLONA’: ABABAKA SSEWANYANA NE NSEREKO BAMULAZE EBINTU 6 BY’ATALINA KWERABIRA appeared first on News Editor.

]]>
https://www.newseditor.co.ug/2020/03/okwogerako-kwa-m7-leero-ku-kolona-ababaka-ssewanyana-ne-nsereko-bamulaze-ebintu-6-byatalina-kwerabira/feed/ 0